TOP
  • Home
  • Buganda
  • Abataka bavuddeyo ku tteeka ly'ettaka: 'Kikyamu okutwala ettaka ly'abantu nga tebaliyiriddwa'

Abataka bavuddeyo ku tteeka ly'ettaka: 'Kikyamu okutwala ettaka ly'abantu nga tebaliyiriddwa'

By Dickson Kulumba

Added 1st December 2017

ABATAKA Aboobusolya mu Buganda bagambye nti kikyamu Gavumenti okubaga etteeka eritwala ettaka ly’abantu awatali kusooka kukkaanya nabo ku kubaliyirira ng’enkola ebaddewo bw'ebadde ne balabula nti kino kyakuleeta emirerembe.

Kiwandiiko3 703x422

Omutaka Kayiira Gajuule Fredrick Kasibante (wakati) ng'asoma ekiwandiiko ky'Aboobusolya ku nsonga z'ettaka e Bulange - Mmengo.

Bino babyogedde mu lukiiko lwabwe olumalako omwaka lwe baatuuzizza e Bulange - Mmengo ku Lwokuna ne bategeeza nti enkulaakulana okujja mu kitundu wasooke kubeerawo kukkaanya n'ab'omu kitundu.

Omukubiriza w'abataka Omutaka Kayiira Gajuule Kasibante yagambye nti mu Buganda mulimu ettaka ly’Obuwangwa eritatundibwa n'alaga obwennyamivu olw’etteeka erijja nga ligenda kuggyawo kino.

Ensonga z’ettaka zizze zigulumbya Bannayuganda nga bangi bali mu kutya olw’ebizibu ebingi okuli okusengulwa, obukuluppya mu nsonga ekyawaliriza ne Gavumenti okuteekawo akakiiko ku nsonga z’ettaka.

Mu lukiiko lwe lumu baayise mu bituukiddwaako mu mwaka guno okuli okutegeka omusomo gw’Ennono n’Obuwangwa n'okusaasira ekika ky'Engabi ekyafiirwa Owakasolya Omutaka Nsamba.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Starleaguenov162019kccabtvipers10kizzaandwilla2 220x290

KCCA FC ekubye Vipers awaluma

KCCA FC emezze Vipers SC egikyalidde e Lugogo ku kisaawe kya Star Times ku ggoolo 1-0 ng’eteebeddwa Mike Mutyaba...

Buza 220x290

Omusajja omukodo abuza omuliro...

TEWALI kintamizza basajja nga bukodo. Balinga abatamanyi nti omukyala yenna aweebwa kubanga kibi nnyo okukama ente...

Wuga 220x290

Omulwadde wa siriimu asobola okuzaala?...

NDI mukyala ayagala waakiri okuzaalayo omwana omu kubanga nnina siriimu. Naye ssenga, kandida annuma naye neebuuza...

Jino 220x290

Ow’emyaka 90 alumirizza ekkanisa...

NNAMUKADDE ow’emyaka 90 alumirizza ab’ekkanisa ya Uganda okumutundira mu ttaka ly’abaddeko emyaka egisoba mu 60....

Linda 220x290

Stecia awadde Julie obukwakkulizo...

ABAYIMBI n’abasuubuzi bongedde ebbugumu mu nteekateeka y’emikolo gy’okwanjula kwa Julie Ssemugga egisuubirwa okubeerawo...