TOP

Muntu awaddeyo ofiisi y'obwapulezidenti bwa FDC

By Ponsiano Nsimbi

Added 1st December 2017

PULEZIDENTI w'ekibiina kya FDC omuggya, Patrick Obboi Amuriat alayiziddwa mu butongole abadde pulezidenti, Rt.Maj. Gen. Mugisha Muntu n'amukalaatira okukuuma ekibiina nga kiri bumu nga bw'akiresse.

Swearing 703x422

Muntu ng'akwasa Amuriat ofiisi y'obwapulezidenti bwa FDC. ebifaananyi bya PONSIANO NSIMBI

Omukolo gw'okumulayiza gubadde ku ofiisi z'ekibiina kino e Najjanankumbi nga gwetabiddwako abakulembeze b'ebibiina ebyenjawulo omuli; Omubaka wa Kyaddondo East mu Palamenti; Robert Ssentamu Kyagulanyi, Elton Mabirizi, eyavuganyaako ku ntebe y'Obwapulezidenti, Loodi Meeya wa Kampala, Erias Lukwago, Dr.Stella Nyanzi n'ababaka ba Palamenti, bannaddiini, ne bannakibiina kya FDC.

Muntu bw'abadde awaayo obuyiza asuubiza okukolagana obulungi ne Amuriat okulaba nga batuukiriza ebigenderwa by'ekibiina.

Yagambye nti olutalo lwe balina ng'ekibiina lwakutwala buyinza na kukyusa ggwanga.

Ye Amuriate agambye nti mu nnaku 100 ez'obukulembeze bwe ezisooka agenda kutandikira ku na kugatta bannakibiina okuzimba emisingi gyakyo okuviira ddala mu byalo.

Asiimye Muntu olw'emirimu gy'akoledde ekibiina ate n'okukkiriza okuwaayo obuyinza mu ddembe, ky'agambye nti kyakuyigirako kirungi eri eggwanga lyonna.

 

 

 

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ev1 220x290

Ekikopo kya Kanyike Cup kitongozeddwa...

Ekikopo kya Kanyike Cup kitongozeddwa

Mayinjangaayimba 220x290

Mayinja yeeganye eby'okuwagira...

Yayogedde ku nkolagana ye n’aba NRM n’agamba nti ali ku mulamwa gwa kubaperereza kwegatta ku kisinde kya People...

Wanga 220x290

Muwala wa kkansala owa S5 bamutuze...

EKIKANGABWA kigudde ku kyalo Kisowera mu ggombolola y’e Nama mu disitulikiti y’e Mukono mu kiro ekikeesezza olwa...

Malawo 220x290

Ab’ewa Kisekka batabukidde Gavt....

ABASUUBUZI b’ekiwayi kya ssentebe Robert Kasolo ewa Kisekka bawadde gavumenti obukwakkulizo ku kabineeti kye yayisa...

Load 220x290

Aba LDU bakubye babiri amasasi...

ABASIRIKALE ba LDU bazzeemu okukuba abantu babiri amasasi ng’entabwe evudde ku bbiina ly’abantu abaabadde baagala...