TOP

Akola ku kisaawe afudde kibwatukira

By Musasi wa Bukedde

Added 2nd December 2017

Akola ku kisaawe afudde kibwatukira

Lip1 703x422

Nakiyaga mufu.

OMUKOZI w’ekitongole kya ENHANCE ku kisaawe ky’ennyonyi Entebbe afudde kibwatukira bw’agudde nga yaakatuuka w’akolera n’afa ng’atwalibwa mu ddwaaliro e Kisubi.

Okusinziira ku Solomon Kyambadde, mukwano gwa Susan Nakiyaga, omugenzi yakedde ku Lwokusatu okugenda okukola kyokka bwe yatuuka ku mulimu n’akaaba omutwe n’okulaajana bw’ayagala empewo olwo n’agwa.

Anyumya nti; Nakiyaga abadde akola n’ekitongole ky’ebyokwerinda nga yeekebejja mpapula z’abasaabaze abayingira eggwanga. Omulambo gwatwaliddwa mu ddwaaliro e Mulago okunoonyereza ekyamusse era abasawo ne bakizuula nti ogumu ku misuwa gye gwayabise, omusaayi ne guyiika mu bwongo,” Kyambadde bw’agamba. Nakiyaga yaziikiddwa e Kabaale- Bugonzi mu Masaka era yalese abaana babiri okuli ow’emyaka etaano n’ogumu.

Omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano, Luke Awoyesigyire agamba nti tebannamanya ku kufa kwa mukozi ono nga poliisi kyokka bakwataganye n’abeebyokwerinda ku kisaawe.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Agambibwa okuwoowa Kenzo ne Rema...

Sheikh ono okuvaayo kiddiridde Kenzo wiiki ewedde okutegeeza nga Muzaata bwe yamuvumidde obwereere n’amulangira...

Stabua2 220x290

Mbalinze nkya ku Obligatto- Stabua...

Stabua Natooro akoowodde abantu okweyiwa mu konsati enkya ku Club Obligatto

Namaalwa1 220x290

Omukungu agobye ffamire ye mu muka...

OMUKUNGU wa gavumenti agobye ffamire ye mu maka. Kigambibwa nti agawasirizzaamu omukyala omulala.

Magogo1 220x290

Magogo bw'aba yalya enguzi tadda...

MUNNAMATEEKA Fred Muwema agambye nti emyezi ebiri FIFA gye yasibye Moses Magogo ng'akkirizza omusango gw'okutunda...

Haruna11 220x290

Embaga za ba Celeb; Tukuleetedde...

Ddala kituufu omuyimbi Haruna Mubiru awasa balinawo?