TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ababbi batomedde abaserikale ababadde babagoba omu n’afiirawoZiddemu

Ababbi batomedde abaserikale ababadde babagoba omu n’afiirawoZiddemu

By Musasi wa Bukedde

Added 2nd December 2017

Ababbi batomedde abaserikale ababadde babagoba omu n’afiirawoZiddemu

Pop1 703x422

Omuserikale Alele eyatomeddwa ng’ali ku kitanda.

OMUSERIKALE eyatomeddwa ababbi e Nakuwadde n’atwalibwa mu ddwaaliro e Mulago ng’ali bubi, atandise okutereera.

James Alele 36, omuserikale ku poliisi y’e Nakuwadde ye yawonye okufa oluvannyuma lw’ababbi abaabadde babbye emmotoka ey’ekika kya Premio UBA 245C be baabadde bagoba okukyusa emmotoka ne babatomera n’amenyeka amagulu ate gwe yabadde naye, Joseph Wafula n’afiirawo.

Alele ng’ono yasangiddwa mu ddwaaliro ly’e Mulago yagambye nti amagulu gombi gaamenyese.

Yagambye nti babadde e Nakuwadde ku poliisi ne beekengera emmotoka ya Premio UBA 245C eyalabise ng’ey’ababbi nga badduka okuva ku kkubo ly’e Nakuwadde okudda e Bulenga ku lw’e Mityana ne bagigobera ku bodaboda.

Agamba nti bano bakyusiza emmotoka ne babatomera n’ekigendererwa eky’okubatta era Joseph Wafula ayambako poliisi okulwanyisa obumenyi bw’amateeka n’afiirawo, ye yamenyese amagulu n’atwalibwa mu kalwaliro e Nakuwadde oluvannyuma n’atwalibwa e Mulago kati gy’ajjanjabirwa.

Yayongeddeko nti awulira ennaku kubanga alina abaana bana n’omukyala abali mu kyalo ky’e Amulata b’alina okulabirira kyokka tamanyi oba anaawona amagulu n’asobola okuddamu okukola. Ate bo ababbi baakwatiddwa ne baggalibwa ku poliisi y’e Bulenga oluvannyuma lw’aba bodaboda nga beegasse wamu n’abatuuze b’e Nakuwadde okubagoba okutuusa bwe baabakutte.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kip2 220x290

Gavumenti eremedde ku ky’okusiba...

Gavumenti eremedde ku ky’okusiba abali ku gw'okutemula Kaweesi

Fam2 220x290

Maama bamusse n’abaana be 3

Maama bamusse n’abaana be 3

Fut2 220x290

Teddy alaze ebyobugagga by’akoze...

Teddy alaze ebyobugagga by’akoze ne Bugingo

Lab2 220x290

Ekibiina ekigatta bannannyini mawoteeri...

Ekibiina ekigatta bannannyini mawoteeri kivuddeyo ku bye bbibiro lya Murchion Falls

Afiiriddemukkanisa3 220x290

Afiiridde mu kkanisa

Poliisi y’ekitundu ereese kabangali okutwalirako omulambo mu ggwanika kyokka abagoberezi ne bagiremesa nga bagamba...