TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Muganda w'omugagga Kirumira attiddwa mu bukambwe eKireka; Omulambo gwe bagusibidde mu bbuutu y'emmotoka ye

Muganda w'omugagga Kirumira attiddwa mu bukambwe eKireka; Omulambo gwe bagusibidde mu bbuutu y'emmotoka ye

By Joseph Mutebi

Added 3rd December 2017

Muganda w'omugagga Kirumira attiddwa mu bukambwe eKireka; Omulambo gwe bagusibidde mu bbuutu y'emmotoka ye

Kap1 703x422

Muganda wa Kirumira Ivan Kagimu Kirumira eyattiddwa ababbi

ABATEMU bataayizza muto w’omugagga Godfrey Kirumira ssentebe w'abagagga banannyini bizimbe mu Kampala mu nnyumba y’e Kireka ne bamukuba akabazzi ku mutwe  ne bamuttirawo ne baduka ne ssente.

Ivan Kagimu Kirumira 42,  abangi gwe babadde bamanyi nga Baker  muto w’omugagga Kirumira abatemu gwe balumbye mu nnyumba ye ekiro ku ssaawa nga 7:00 mu kiro ekikeesezza olwaleero ku  Ssande ne bamukuba akabazzi ku mutwe ne bamuttirawo ssente zonna obukadde 50 bweyabadde nabwo ne bagenda nabwo.

Ssentebe w’eggombolola y’e Namugongo mu Kira munisipaliti Guster Mukasa era nga ye ssentebe wa LC ya Kireka A, omugenzi mwabadde ne nnyumba ya kalian okuliraana amakage mwebamutidde  ategeezezza Bukedde nti  omutuuze we abantu bamulabyeko ku ssaawa nga 5:00 ez’ekiro ku Lwomukaaga ng’ayingira ekikomera kye kino.

 van irumira ngali mu office gye buvuddeko Ivan Kirumira ng'ali mu office gye buvuddeko

Wabula yabadde alina abavubuka bayamba okulabirira awaka babbiri gattako muwala we Annet Nakagimu  ow’emyaka nga 16 ategeezezza nti taata we bweyakomyewo nanyingira n'alagira bamunyigeko ku mubiri yabadde nakanyama amuluma bwebamaliriza ye, ne yeebaka.

“Guster agamba nti omuwala ono obudde bwagenze okukya nga bamusibidde mu kisenge kye  n’ekinyolo abavubuka bano ne beekobaana ne bannaabwe ne bamutemula kubanga waliwo omu ku bapangisa eyasanze abavubuka nabo nga batudde ku ggeeti ekiro ssaawa nga 6:30  nga bataano ne mikwano gyabwe banyumya” Bwatyo bwategeezezza.

 Wabula oluvannyuma okusinziira ku mulambo bwe gubadde gufaanana Kirabika bamukubye akabazzi ku mutwe ne bamunyaga ne ssente ze zonna obukadde obuli 50,000,000/- muwala we z’agamba nti kitaawe yabadde aziweza.

Ye Omugagga Godfrey Kirumira Agamba nti yakedde kugenda ku mbaga ya muwala Godfrey Kyeswa owa Maria Galeria eyabadde awasa muwwala wa munnakatemba Ssenkubuge Siyasa eyabadde e Kiggo ku Serena.

Wabula yabadde yakatuuka awaka  ku ssaawa nga 10:00 ez’ekiro yabadde  ayingira bwati mu nju omu ku batabani b’omugenzi n'amukubira essimu nti taata bamusse.

“Navugiddewo mmotoka okutuuka e Kireka ku mulambo era nasanze poliisi yesibidde mu geeti ne basooka  bangaana okuyingira eddakika nga 30. Wabula oluvannyuma ne nva mu mbeera okutuuka mu luggya nga muganda wange bamusse ne bamupakira mu buttu ya mmotoka ye ekika kya Land Rover UAM 502B” Bwatyo Kirumira bwategeezezza.

Ayongeddeko nti poliisi yamutegeezezza nti abatemu bwe bamaze okutta Ivan Kirumira bamuwaludde okuva ku maddaala ga kalina waggulu  okutuuka wansi omulambo gwe ne baguteeka mu buttu ya mmotoka ye wabula ne balema okusimbula okuva mu kifo.

Omwogezi wa poliisi mu ggwanga Emilliano Kayima agambye nti poliisi esobodde okukwatako abavubuka babbiri amanya gatayogedde ssaako ne  muwala w’omugenzi Nakagimu ayambe okunnyonnyola poliisi ye Kireka ekituufu ekyabaddewo  wadde era kigambibwa nti omuvubuka eyadduse n'akasawo ka ssente, ATM ne kaadi z’omugenzi ez’essimu.

Bano poliisi yabasanze basiimula omusaayi mu nnyumba ekiro nga bukya ssaako okwoza kapeeti kwebamutidde n’ebisenge gattako okusimula amaddaala kwebakululidde omulambo.

Nakagimu ategeezezza poliisi nti kitaawe bwe bamaze okumutta ku ssaawa nga 9:00 ekiro ne bamugulira ekisenge ne bamugamba nti abatemu ababadde babanja kitaawo bamusse ne badduka ne ssente ze era wano kwekufuluma ayite abantu.

Ye Omugagga Kalungi omu ku baganda ba Kirumira ategezezza nti basaaliddwa nnyo muganda waabwe okumala gafa bwati ng’ate babadde bamulinamu esuubi ddene omusajja abadde omukozi ne bamulesa abaana abato bwebati.

                OKUZIIKA: Omugagga  Kirumira agamba nti Ivan bagenda kumuziika leero ku kiggya kya kitaabwe e Busega mu munisipali y’e Lubaga ku ssaawa 10:00 ez’olw’eggulo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kavuma1jpgweb 220x290

Omukazi yanfera omukwano

Nze Abdurrahman Musingunzi 25, mbeera Kalerwe. Twasisinkana n’omukazi mu ttendekero erimu eryobusomesa e Ibanda...

Mwana2jpgweb 220x290

Abazadde basobeddwa olw'omwana...

Abazadde basobeddwa olw'omwana waabwe okuyubuka olususu buli olukya naye nga tebamanyi kimuluma. Bagamba nti omwana...

Kadaga 220x290

Kadaga alabudde abakozesa obwana...

Sipiika wa Palamenti, Rebecca Kadaga asabye gavumenti okussaawo amateeka amakakali agakangavvula abakozesa abaana...

Ndagamuntuyomugenzi2 220x290

Afiiridde mu mulyango nga bamutwala...

Abatuuze basabye bannannyini mayumba okukomya okupangisa abantu amayumba nga tebafunye bibakwatako

Sat2 220x290

Ttiimu 40 zikakasizza okwetaba...

Ttiimu 40 zikakasizza okwetaba mu mpaka za Begumisa cup