TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Muntu akwasizza Amuriat ofiisi n’amulabula ku ba FDC

Muntu akwasizza Amuriat ofiisi n’amulabula ku ba FDC

By Musasi wa Bukedde

Added 3rd December 2017

Muntu akwasizza Amuriat ofiisi n’amulabula ku ba FDC

Lod1 703x422

Amuriat ng’akwasa Mugisha Muntu ekirabo ky’akatabo okumusiima.

PULEZIDENTI w’ekibiina kya FDC omuggya, Patrick Obboi Amuriat alayiziddwa, abadde pulezidenti Rt. Maj.Gen. Mugisha Muntu n’amukalaatira okwegendereza abantu b’agenda okukola nabo.

Muntu okwogera bino yabadde akwasa Amuriat ofiisi mu butongole ku Lwokutaano oluvannyuma lw’okulayizibwa ku kitebe ky’ekibiina e Najjanankubi. Muntu yasinzidde wano n’asekerera bannakibiina ababadde bamwogerera nti wa NRM n’agamba nti bano Amuriat alina okubeegendereza.

Amukalaatidde okukuuma ekibiina nga kiri wamu nga bw’akirese n’okuteeka enjawukana zaabwe ez’obuntu ebbali bakwatize wamu okutwala obuyinza n’okukyusa eggwanga nga balwanyisa enfuga y’obwannakyemalira. Amuriat yagambye nti okukyusa obuyinza tekibeetaagisa kugenda ku nguudo kwekalakaasa oba kukasuka mayinja, balina kubeera bumu na kukolera okubutwala.

Yagambye nti azze kukola na kuleeta nkyukyuka mu kibiina gy’asuubiza okugiragira mu nnaku ze 100 ezigenda okusooka ng’ali mu ofiisi. Yagambye nti ye n’olukiiko lwe bagenda kutandikira ku kusisinkana bakulembeze ba bibiina abenjawulo n’okugatta bannakibiina.

Okuteeka eryanyi ku kakiiko k’ebyokulonda okulaba nga kategeka okulonda kwa bassentebe b’ebyalo mu bwangu, okutambula eggwanga lyonna nga beebuuza ku bantu ku nnyingo 102B, okuyingiza bammemba abapya mu kibiina, okuzimba ofiisi z’ekibiina empya n’ekifo ky’ebyobusuubuzi, okuteekawo ettendekero ly’eby’obufuzi n’ebirala.

Omukolo gwetabiddwaako abakulembeze abenjawulo, okwabadde eyavuganyaako ku bwa pulezidenti, Elton Mabirizi, Pulezidenti wa CP, John Kenny Lukyamuzi, Loodi Meeya wa Kampala, Erias Lukwago, Dr. Stella Nyanzi, ababaka ba palamenti, bannaddiini ne bannakibiina kya FDC.

Abalala abaalayiziddwa kuliko; Habib Buwembo omuwandiisi w’abakozi ne Francis Mwijukye ow’ebyensimbi. Oluvannyuma abawagizi ba Amuriat baamutonedde ebirabo okumuyozaayoza.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Npc03webuse 220x290

Abavubuka bayambibwe mu byobulamu...

Abavubuka basaana bayambibwe mu byobulamu basobole okwekuuma, okwejjanjabisa n'okumanyisibwa ebikwata ku byobulamu...

Coffeetree1webuse 220x290

Alina omusaayi omutono muwe amazzi...

Atalina musaayi kozesa bikoola bya mmwaanyi ofune ogukumala

Camavingajpg111 220x290

Ttiimu za Premier 3 ziswamye musaayimuto...

Camavinga, wa myaka 16 era ttiimu za Premier zigamba nti akacanga nga Paul Pogba.

Ssuubikazimba 220x290

Abakrisitaayo balabuddwa okulwa...

ABAKRISTAAYO balabuddwa okukomya okumala obudde bwonna mu masinzizo nga balindirira Katonda okubakolera ebyewuunyo...

Mbvsmpindi1web002web 220x290

Abembogo beewaanye bwe bagenda...

ABAWAGIZI n'abakungu be Mbogo beewanye nti "omunene asigala munene" oluvanyuma lwokukuba Empindi ggoolo 3-0 mu...