TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Mugisha Muntu ayanukudde abamuyita ''mbega wa Museveni''

Mugisha Muntu ayanukudde abamuyita ''mbega wa Museveni''

By Muwanga Kakooza

Added 4th December 2017

GEN. Mugisha Muntu ayanukudde abamuyita mbega wa Pulezidenti Museveni mu FDC n’agamba nti mu kibiina kino (FDC) temuli bya kubegamu.

Mugi1 703x422

Mugisha ng’alina bye yeewuunaganya n’eyali minisita w’e Mmengo Ssewava Sserubiri.

Muntu era awabudde abaagala okuleeta Bobi Wine ku Bwapulezidenti nti oba gwe baagala basaanidde bamuteeketeeka.

‘’Akole ekibiina ekikye oba ayingire kino (FDC) mumuteerewo n’emirandira,’’ Muntu bwe yawabudde.

Yabadde ayogera ku leediyo ya FM emu mu Kampala n’agamba:

‘’ Eby’abampita mbega wa NRM sibifaako. Mu FDC temuli kyakubega. Temuli mmundu. Teri ayagala kulwana. Singa ndi mbega nadibadde nnafuya ekibiina naye sikikoze’’ bwe yagambye ng’asinziira ku leediyo ya FM emu mu Kampala, n'ayongerako nti tayinza kudda mu NRM wadde mu nsiko.

Yagambye nti  ayagala bammemba b’ekibiina batuule bateese ku bimwogerwako nti ‘’mbega wa NRM’.

Yategeezezza nti ekibiina kyetaaga kituule kirabe ekiddako okusalawo oba nkola ya kuguguba gye balaba y’eneebayamba okutwala obuyinza oba nkola ya buntu bulamu ey’okusooka okutereeza ekibiina ye nga Muntu  gy’alowoolezaamu, n’agamba nti ayagala asomesebwe engeri enkola y’okuguguba oba okwekalakaasa gy’eneebayamba okutwala obuyinza.

Yavumiridde eby’obufuzi by’okuvumagana wakati w’abeesimbyewo n’agamba nti tebirina gye bitwala ggwanga mu maaso n’alabula  abakyeyambisa nti nabo bwe banaatuuka mu buyinza y’enkola y’emu ejja okubasuula.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Gab1 220x290

Omwana agambibwa okubuzibwawo ku...

Omwana agambibwa okubuzibwawo ku lwomukaaga atadde bazadde be ku bunkenke

Man2 220x290

Ebireetera omusajja okusuulawo...

Ebireetera omusajja okusuulawo omukazi gw’afunyisizza olubuto

Deb1 220x290

Ebivaako ‘kaseti’ okugaaya‘tteepu’...

Ebivaako ‘kaseti’ okugaaya‘tteepu’ n’egiremeramu

Web2 220x290

Enkuba egoyezza ekkanisa e Lwengo...

Enkuba egoyezza ekkanisa e Lwengo

Reb1 220x290

Aba Bbanka enkulu bannyonnyodde...

Aba Bbanka enkulu bannyonnyodde lwaki ebimu ku biwandiiko bya Bbanka ezaatundibwa tebabirina