TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Gav't egenda kwewola obuwumbi 1,300 okuzimba ekisaawe ky'ennyonyi ekipya

Gav't egenda kwewola obuwumbi 1,300 okuzimba ekisaawe ky'ennyonyi ekipya

By Muwanga Kakooza

Added 4th December 2017

GAVUMENTI egenda kwewola obuwumbi 1,300 (1.3 trillion) okuzimba ekisaawe ky'enyonyi ekipya e Kabale.

1entebbeairport 703x422

Ekisaawe kino kye kimu ku pulojekiti z’okuyamba Uganda okunyweza eby’okusima amafuta ga Uganda okusuubirwa okutandika mu mwaka 2020.

Ensimbi zigenda kwewolwa okuva mu bbanka okuli UK Export Finance  ne Standard Chartered Bank e London.

Minisita w’eggwanga ow’ebyensimbi David Bahati  yategeezezza nti  ng’oggyeeko ekisaawe gavumenti etegeka okuzimba amakolero, eddongooserezo ly’amafuta n’ebintu ebirala mu kitundu ky’e Bunyoro kino omugenda okusimwa amafuta.

Ekisaawe kigenda kuggwako ennyonyi ennene  ezigenda okuleeta ebyuma by’okusima amafuta wamu n’okuyamba okutumbula eby’obulambuzi mu kitundu.

Palamenti yakkirizza dda Uganda okwewola ssente ezo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kkeesiwebusebig 220x290

Omugaso gw’okutegeka obulungi omudaala...

Entegeka y'omudaala gwo y'esalawo bakasitoma n'e ssente by'ofuna olunaku

Ashimu2webuse 220x290

Mu kukuba bbandi mwe nfuna ebisale...

Ekitone kyange kinnyambye okutuuka we nnali sisuubira mu kusoma n'okutambula mu bitundu by'eggwanga eby'enjawulo...

Akellofixingacarengineafterassemblingitwebuse 220x290

Omuwala akanika yingini za mmotoka...

Ono omuwala tazannya, akanika yingini ya mmotoka n'aleka kasitoma ng'amunyeenyeza mutwe. Okukanika yakuyigira ku...

Kyeyo 220x290

Abagenda ku kyeyo 54 bakwatiddwa...

MINISITULE y’ensonga z’omunda eraze Bannayuganda 54 abaakwatiddwa ku kisaawe kya Kenyatta International Airport...

Okukyala kw’ennaku zino engeri...

Ennaku zino okukyala kukyuse nnyo ng’omusajja bw’aba teyeenywezezza kuyinza okumulema.