TOP

Gav't esabye bannansi okuyimiriza akeediimo

By Muwanga Kakooza

Added 4th December 2017

GAVUMENTI esabye abasawo abazaalisa ne bannansi obutagenda mu maaso na keediimo ng’egamba nti ensonga zaabwe ez’okubongeza omusaala zikolwako.

Aceng703422 703x422

Minisita Ruth Aceng

GAVUMENTI esabye abasawo abazaalisa ne bannansi obutagenda mu maaso na keediimo ng’egamba nti ensonga zaabwe ez’okubongeza omusaala zikolwako.

Minisita w’ebyobulamu Dr. Ruth Aceng ategeezezza nti abasawo basanidde baleme kwediima kuba ensonga zaabwe zikolwako.

Bino biddiridde ekibiina ekigatta abasawo bannansi n’abazaalisa ekya ‘’The Uganda Nurses and Midwives Union (UNMU)’’ okufulumya ekiwandiiko nga bagamba nti bagenda kutandika akeediimo enkya ku Lwokubiri singa omusaala gwabwe tegwongezebwa kutuuka ku bukadde bubiri n’ekitundu ne bongerwa n’ensako.

Omuwandiisi w’ekibiina ky’abasawo kino, Paul Bukenya yategeezezza nti mu bbaluwa nti singa ensonga zaabwe tezikolwako ekiddako kwediima, n'alangirira nti batandika nkya ku Lwokubiri December 5.

Aceng yagambye abaamawulire nti Minisitule y’ensonga z’abakozi ba gavumenti ne Palamenti bikola ku nsonga zaabwe bakkakkane.

‘’Tusaba bannansi n’abazaalisa basigale ku mirimu nga bulijjo ng’ensonga zaabwe bwe zikolwako,’’ Aceng bwe yagambye.

Sipiika wa Palamenti, Rebecca Kadaga yategeezezza gye buvudeko nti Palamenti egenda kubuuliriza ku kwemulugunya kw’abasawo.

Badokita nabo bakyayimirizzaamu ku kediimo kaabwe okutuusa nga December 15.  

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sob1 220x290

Mu mboozi yaffe n'omukenkufu tukuleetedde...

Mu mboozi yaffe n'omukenkufu tukuleetedde engeri gy'oyinza okukozesa katunguluccumu mu kwejjanjaba ate nga bw'omunogamu...

Wange1703422 220x290

BUKEDDE W’OLWOKUNA ALIMU EBIKULU...

Sobi eyeewaana okutta abantu ayogeza maanyi. ISO enyigirizza Poliisi n’emuyimbula.

Manage 220x290

Gavumenti eyimirizza abaalondeddwa...

PULEZIDENTI Yoweri Museveni ayimirizza okutendeka ebibinja by'abavubuka abakuuma ebyalo n'okusolooza 1,000/- okuva...

Ds2ciwsw4aaccf1 220x290

UNRA eyiiseemu omusimbi mu bajeti...

SSENTE ez’ettundutundu eryokusatu erya bajeti y’eggwanga ey’omwaka 2017/18 zifulumye ng’ekitongole kya UNRA eky’ebyenguudo...

Jamwa1 220x290

Chandi Jamwa ajulidde mu kkooti...

EYALI akulira NSSF, David Chandi Jamwa, eyazzeemu okusibwa emyaka 12 olw’okufiiriza gavumeti ssente, ajulidde ng'awakkanya...