TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Bannayuganda abali e Bungereza batandise ennyimba ezaaniriza amazaalibwa

Bannayuganda abali e Bungereza batandise ennyimba ezaaniriza amazaalibwa

By Teddy Nakanjakko

Added 5th December 2017

Bannayuganda abali e Bungereza batandise ennyimba ezaaniriza amazaalibwa

Bug1 703x422

Abakrisitaayo nga bayimba ennyimba z'amazaalibwa mu St Johns's Church e Londo mu Waterloo

XBAKULISITAAYO abeegattira mu kibiina eky'okusinza mu Luganda e Waterloo ne Manchester ku ssande ewedde beegasse wamu mu kusaba okw’ennyimba n’ebitundu ez’okwaniriza ez’amazaalibwa ga mukama waffe yesu kristo.

Okusinza kuno okwabadde okwebugumu kwabadde mu kkanisa ya St. John’s Church e London Waterloo era nga kwakulembeddwa omusumba Rev. Dr. Godfrey Kaziro ng'ayambibwako ababuulizi, Ester Kawooya ne Alex Mutyaba, Ssentebe era Omuwanika Timothy Musajjakawa, omukubi w'ennanga Michiah Mukiibi wamu n'omuyimbisa Timothy Kimuli

Abaweereza abalala abeetabye ku Kusinza kuno mwabaddemu, Revd. Stephen Nshiimye akulira Okutendereza mu Luganda ku St. Alfege e Greenwish wamu ne Ssabadikoni w’ekitundu The Venerable Simon Gates eyabadde omugenyi omukulu.

Ate bbo abakristaayo be Manchester bakulembeddwa Omukubiriza,Omukungu Enock Mayanja Kiyaga, omubuulizi Isaac Jakira wamu ne Choir eyakulembeddwa Omutendesi Michael Mukiibi, abakulira Choir Mwami Edward Kayemba ne Muky. Lydia Kiyaga.

 

Abalala ab’ebitiibwa bangi omuli Omubaka wa Ssaabasajja e Bungereza ne Republic of Ireland Ronald Lutaaya wamu n'abamyukabe, Omulangira Herbert Kateregga, Omulangira Mawanda Jjuuko wamu ne Munnamawulire omugundiivu Joel Kibazo

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Tembeya 220x290

Walukagga atadde akaka mu luyimba...

Nga yaakamala okugaanibwa okuyimba ku mukolo ogumu e Mpigi gyebuvuddeko, omuyimbi Mathias Walukagga embeera agiyimbyemu...

Tin1 220x290

Pressure esse abafamire babiri...

Pressure esse abafamire babiri omulundi gumu

Harvest 220x290

Amagye lwe gassa ku Mubarak akazito...

Amagye lwe gassa ku Mubarak akazito n'alekulira

Abetz 220x290

Abtex totya abasajja tubalina -...

POLIISI yagaana Bobi Wine okuddamu okulinnya ku siteegi. Bino byagenda okubaawo ng’abategesi b’ebivvulu, Abbey...

Kenzo 220x290

Aziz wangoba kati oyagala nkusiime...

OMUYIMBI Eddy Kenzo addizza Aziz Azion omuliro olw’okumulangira nga bwe yamuyamba n’atamusiima n’agamba nti Aziz...