TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Nantaba azzeemu okulumba Namuganza: 'Todda e Kayunga ate ddaayo osomesebwe ensonga z'ettaka kuba tozitegeera'

Nantaba azzeemu okulumba Namuganza: 'Todda e Kayunga ate ddaayo osomesebwe ensonga z'ettaka kuba tozitegeera'

By Musasi wa Bukedde

Added 6th December 2017

Minisita w'eggwanga owa tekinologiya, Aidah Erios Nantaba alabudde minisita omubeezi ow’ebyettaka, Persis Namuganza obutaddamu kweyingiza mu nsonga z’ettaka mu disitulikiti y'e Kayunga kubanga ye (Nantaba) azeesobolera.

Nataba1 703x422

Baminisita; Nantaba, Baryomundi n'omubaka Kumama

BYA IVAN LUBEGA

Nantaba era ajereze Namuganza obutamanya by’akola bw'atyo n’asaba abakulu okusooka okumusomesa ku by’ettaka alyoke addemu okukola ku nsonga z’ettaka mu ggwanga.

Gye buvuddeko, minisita w’ebyettaka, Betty Among yagenda ku kyalo Nkokonjeru e Kayunga n’asisinkana abatuuze n’abategeeza nga Gavumenti bwe yali esazizzaamu ekyapa ky’omugagga wa Kayunga Sugar eyali yezza ettaka lyabwe era nga basulirira kusengulwa.

Kino kyava ku kakiiko k’ebyettaka e Kayunga okuguza kampuni ya Kayunga sugar ettaka lino okutudde ebyalo 16 kigambibwa nti ab’akakiiko bategeeza musigansimbi nti ettaka tekuli batuuze.

Embeera eno yatabula abatuuze ne beekubira enduulu eri Nantaba okubayamba, naye n'addukira ewa Minisita Betty Amongi eyalagira ekyapa kisazibwemu.

Amongi yategeeza abatuuze b'e Kayunga nga bw’agenda okuddayo essawa yonna ye kennyini okubalambika ku nteekateeka nga bw’egenda okutambula wabula wiiki ewedde Namuganza yagenze mu kitundu kye kimu n’akuba olukiiko lw’ebyettaka ekintu ekyatabudde Nantaba nga ye mubaka omukyala owa district ye Kayunga mu parliament.

Nantaba asitudde ebikonge mu lukiiko

Nantaba yasitudde ebikonge okuva mu minisitule y’ebyettaka abaabadde bakulembeddwa minisita omubeezi ow’ebyamayumba, Dr. Chris Baryomunsi, omuwandiisi ow’enkalakkalira mu minisitule, Docus Okalany, akulira eby’ettaka mu ggwanga Nawomi Kabanda, akulira eby’ebyapa mu ggwanga, Opio Robert, wamu n'akulira aba saveya n’abanene abalala.

Bano Nantaba yabatutte ku kyalo Nkokonjeru Namuganza we yakuba olukiiko okukakasa abatuuze nga bwe bagenda okufuna ebyapa.

Mu lukiiko luno Nantaba mwe yajeregedde ebyakolebwa Namuganza bye yayise eby’ekifere kubanga ku bantu be yasitudde Namuganza teyalinaako wadde n’omu.

Nantaba yasiimye Amongi olw’okulumirirwa omuntu wa wansi era bwatyo n’ategeeza nga Amongi bw’atatumangako Namuganza Kayunga era nti yatumye Chris Baryomunsi okukola ku nsonga z’ettaka e Kayunga.

Mu lukiiko luno omuwandiisi ow’enkalakalira mu minisitule y’ebyettaka Docus Okalany yagumizza abantu be Kayunga nga gavt bw’egenda okubawa ebyapa mu bbanga lya myezi 2 gyokka nga bino byakuwebwa abatuuze ku byalo 16 mu magombolola 3.

Minister Chris Baryomunsi asabye abantu be Kayunga okukolaganira awamu okulaba nga abatuuze bafuna ebyapa.

Karangwa kata atabule olukiiko

Wabula wabaddewo katemba omugagga Karisa Karangwa bwe yazze ng’olukiiko lugenda mu maaso, amangu ddala Nantaba n'awamba akazindaalo n’aweereza Karangwa ebisongovu wakati mu kuggyayo ebyawandiikibwa.

“Katonda bwe yayita ba malayika ne sitaani n’ajjiramu, onsemberezanga emmeeza mu maaso g’abalabe bange…… mulabe omusajja wuuno eyali anzise kati alaba njogera… Mukama mulungi…” bye bimu ku bigambo Nantaba bye yayogedde nga Karangwa atuuse mu lukiiko.

Abantu bacankalanye abatuuze ne batandika okwecwacwana nga bwe basembera awaabadde abakulu era bakakkanyiziddwa poliisi.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Gab1 220x290

Omwana agambibwa okubuzibwawo ku...

Omwana agambibwa okubuzibwawo ku lwomukaaga atadde bazadde be ku bunkenke

Man2 220x290

Ebireetera omusajja okusuulawo...

Ebireetera omusajja okusuulawo omukazi gw’afunyisizza olubuto

Deb1 220x290

Ebivaako ‘kaseti’ okugaaya‘tteepu’...

Ebivaako ‘kaseti’ okugaaya‘tteepu’ n’egiremeramu

Web2 220x290

Enkuba egoyezza ekkanisa e Lwengo...

Enkuba egoyezza ekkanisa e Lwengo

Reb1 220x290

Aba Bbanka enkulu bannyonnyodde...

Aba Bbanka enkulu bannyonnyodde lwaki ebimu ku biwandiiko bya Bbanka ezaatundibwa tebabirina