TOP

Enju y’owa Kwagalanabbanka egitwala

By Musasi wa Bukedde

Added 6th December 2017

AKATUUBAGIRO k’ebyenfuna mu ggwanga kongedde okunyiga abagagga kkooti eragidde okutunda amaka g’omugagga Tom Mugenga ku nnyondo lwa bbanja lya buwumbi bubiri.

Kuba1 703x422

Amaka agali mu lusuubo. Mu katono, Mugenga ne mukyala we

BYA ANNET NALUGWA

Ddoola 819,204 (2,949,134,400/- eza Uganda) Mugenga yazeewola mu Bank Of Africa Kenya nga yalina okuzisasula abeere ng’azimazeeyo mu February omwaka guno.

Yateekayo omusingo gwa maka ge agatudde ku Bbulooka 244 poloti 948 Kyaddondo.

Amaka gasangibwa Kisugu mu Kampala mw’abeera ne famire ye. Mugenga mmemba mu kibiina kya ‘Bagagga Kwagalana’ era ye nnannyini Mugenga Holdings e Mombasa Kenya.

Ebbanja bwe lyamuyinze obuzito, bbanka n’emutwala mu Kkooti Enkulu mu Kampala etaawulula enkaayana z’ebyobusuubuzi ebalamule.

Mu February w’omwaka guno kkooti yasazeewo ng’ekkiriza bbanka okutunda amaka enunule ssente zaayo.

Nga March 15, 2017 bbanka ng’eyita mu Bannamateeka ba Ligomarc Advocates, yawandiikidde Mugenga ng’emulagira nti nga yeesigama ku tteeka erifuga emisingo, yabadde egenda kutunda amaka ge enunule ssente zaayo.

Mukyala we Sarah Mugenga yakwataganye n’abaana baabwe okuli; Fred, Andrew ne Prince Mugenga ne bajulira mu kkooti ejulirwamu nga bawakanya ennamula ya Kkooti Enkulu.

Nga batema empenda ezisoboka, omukyala n’abaana baasabye kkooti okuwa ekiragiro okuyimiriza okutunda amaka gaabwe era October 25, 2017 Omulamuzi Jane Alividza yawadde ekiragiro ekiyimiriza enteekateeka z’okutunda.

Ekiragiro kino yakiweereddeko akakwakkulizo nti okuyimiriza okugatunda ne bwe kibeera kiweddeko, balina okuba nga basasuddeko waakiri ebitundu 30 ku 100 ku ssente ezibabanjibwa.

Kyokka ekibatadde ku bunkenke, ekiragiro kiggwaako December 23, 2017. Kino kyongedde okutunduzza ab’amaka ga Mugenga emmeeme ne baddayo mu kkooti okugisaba eyongezeeyo ekiragiro kino.

Ensonga ze bawadde, omukyala agamba nti kyokka tebamanyi lunaku ki kkooti ejulirwamu lw’egenda kuwulira musango gwabwe kyokka beeraliikirivu nti ekiragiro bwe kiggwaako bbanka eyinza okugenda mu maaso n’etunda amaka gaabwe.

TOM MUGENGA Y’ANI?

  • Omwaka oguwedde minisita w’ebyensimbi Matia Kasaija yalangiridde nti Gavumenti yabadde yeddizza emu ku kkampuni za Mugenga eya Kisoro Potato Processing plant ng’emulemeredde.
  • Dayirekita mu kkampuni ezimu eza Sudhir Rupareria okuli; Dolphin Suites, Forest Cottages, Speke Hotel, Kampala Parent’s School, Rosebud Ltd, Sanyu FM, eyali bbanka ya Crane, Crane Financial Services ne Crane management.
  • Musuubuzi era mmemba mu kibiina kya Bagagga Kwagalana.
  • Dayirekita mu kkampuni ya Mugenga Holdings Ltd.
  • Musajja mufumbo ne Mukyalawe Sarah Mugenga nga balina abaana n’amaka e Kisugu.
  • Mugenga agambibwa okubeera nga yali omu ku bagagga mu Kampala abaalaajanidde gavumenti omwaka oguwedde ebasuule omukono ng’amabanja gabatudde mu kifuba.

ABAGAGGA ABALALA ABANYIGIRIZIDDWA EMBEERA ENO:

  1. Ebizimbe bya John Ssebalamu okuli Money Centre (Mini Price) ne Naiga Chembers byalugenze olw’embeera.
  2. George William Kajoba eyabadde nnannyini Sajovalo Hotel ku Lubaga Road naye yasigadde mu ttayo olw’ebbanja lya KBC Bank.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Looya1 220x290

Lukyamuzi ne Bwanika basabye kkooti...

EYALI omubaka Ken Lukyamuzi atutte akakiiko k’ebyokulonda mu kkooti Enkulu ng’ayagala ekalagira kayise ekiragiro...

Kasimba 220x290

Abeddira akasimba basonda za kuzimba...

Yategeezezza nti ekika kirina enteekateeka y’okuzimba ekizimbe gaggadde ekituumiddwa 'Akasimba Plaza' okukolerwa...

Seb1 220x290

Hanson Baliruno akubye abawagizi...

Hanson Baliruno akubye abawagizi be omuziki ne yeebaza Katonda olw'ekirabo eky'obulamu

Cot1 220x290

Abalamuzi bayimirizza akeediimo...

ABALAMUZI bakyusizza obukodyo bw’okusaba Gavumenti ebongeze emisaala ne bayimirizza n’okwekalakaasa kwe babadde...

Fdc1 220x290

Salaamu Musumba alangidde ababaka...

OMUMYUKA wa Ssabawandiisi wa FDC Salaamu Musumba alangidde ababaka ba Palamenti ‘’obufere’’ n’ategeeza ng’ekibiina...