TOP

Abaana n’ennyumba bitabudde abafumbo

By Musasi wa Bukedde

Added 6th December 2017

OMUKAZI attunka ne bba ku nju y’amaka gaabwe aggyeeyo bwiino omukambwe ku bba eyamugoba mu maka gaabwe n’amuggyako n’abaana be ababiri okuli ow’emyaka 5 n’owemyezi 11.

Wada 703x422

Karungi n'omwana. Ku ddyo, Karungi ne Kimera mu biseera ebyasooka.

Abafumbo bano Karungi ne bba Uthman Kimera ensonga zaabwe z’aggweeredde ku poliisi ya CPS oluvannyuma lw’ebbanga nga bba yamugoba n’amuggyako abaana babiri.

Ababiri bano batuuze b’e Komamboga era nga gye baazimba amaka ge bakaayanira.

Karungi agamba nti yadde bba yamugoba naye tajja kussa mukono kuba amaka alinako omugabo.

Newankubadde Karungi abaana be yabafunidde ku poliisi ya CPS mu Kampala, talina mirembe oluvannyuma lwa bba Kimera okusigala ng’awera okumutuusaako obulabe singa tava ku baana.

Agamba nti kino kimuleetedde okutya kuba okuva lwe yatabuka ne bba ne baawukana yali afunyeeko obulumbaganyi abazigu bwe baamuwondera ne bakuba amasasi mu mmotoka ye era ng’emisango gino giri ku poliisi.

Agamba nti kino era akissa ku bba kuba yali amutaddeko abantu abamuketta n’okumuwondera buli lunaku era ng’alowooza nti be baakuba mmotoka ye amasasi ng’ava okukola.

Annyonnyola nti oluvannyuma lw’okufuna ekikangabwa kino ate nga na kati akyagenda mu maaso n’okwewera nga bw’ajja okumukola ekikyamu, we yeekukumye tasobola kwogerawo.

OKUTABUKA KUVA KU KI?

Karungi agamba ekibatabula ne Kimera alina ebbuba lingi, era emyaka munaana gye bamaze bonna abadde ng’ali mu kkomera nga yamugaana n’okukola nti abasajja bajja kumutwala newankubadde yasoma.

Omukyala ono agamba nti bba yali yamussaako abakuumi awaka babiri nga ne bw’aba alina ky’agenda okugula ku dduuka alina kusaba bbo ate bo ne bamukubira ne bamunnyonnyoola nga bwe njagala okufuluma n’akkiriza oba n’agaana.

Annyonnyola nti oluvannyuma lw’embeera eno ate nga yasoma, yasalawo okutandika okukola era n’aggulawo edduuka mu Kikuubo gy’abadde akolera era ng’ava awaka n’agenda ku mulimu n’akomawo akawungeezi.

“Wabula okuva lwe natandika okukola, Kimera n’akimanya teyaddamu kulinnya waka era nga takyalina ky’aleeta nga ne bwe mmugamba nti tulina kye twetaaga abuuza kimu ggwe tokola? Naawe kigule.

Embeera nagigumira era ne ngitambuliramu okumala emyezi ena gye mmaze nga nkola ng’omukulu oyo talinnya wange,” Karungi bwe yategeezezza Bukedde.

NASIMATTUKA AMASASI

Karungi agamba nti nga October 27, 2017 yali ava ku mulimu avuga adda awaka, abazigu abaali batambulira ku bodaboda baalumba mmotoka ye mwe yali ne bagikubamu amasasi mu bitundu by’e Komamboga era mu kiseera kino eri ku poliisi.

Agamba nti Kimera yali yamussaako abantu abamuwondera era mu kiseera ky’ekimu abantu be yategeera oluvannyuma nti baali ba poliisi. Era bano yabaggulako omusango mu kitongole kya poliisi ekikwasisa empisa ng’omusango guli ku fayiro GEF/958/2017.

Wabula abaserikale bannyonnyola oluvannyuma lw’okukuba amasasi mu mmotoka yange nti baali babagambye nti emmotoka ya babbi wabula ekyewuunyisa nga bba mu nnaku ntono emabega yali asoose okundaalika nga bwe yali ajja okuntuusaako obulabe.

ENGERI GYE YANGOBA MU NJU

Nga October 22, 2017 Karungi agamba nti yali ava ku mulimu ng’adda awaka agenda okuyingira ekikomera abaserikale ba Flying Squad ne bamukwata ne bamussa ku mu mmotoka ne bamuvuga okutuuka ku poliisi ya Jinja Road.

Baamutegeeza nti yabba ssente za bba obukadde 3 era n’amuggulako omusango. Ku poliisi yamalawo ennaku bbiri.

Eno bba wa muganda we ye yamweyimirira okumuggyayo ku kakalu ka poliisi era agenda okudda awaka nga Kimera yassaawo abaserikale tebamukkiriza kuyingira era ebintu bye byonna by’asigala eyo okuli ebiwandiiko by’obuyigirize n’engoye ze.

Karungi yannyonnyodde Bukedde nti bba abadde akozesa amaanyi mangi ku poliisi era nga buli lwe yeekuubira enduulu ku poliisi okumuyamba nti waliwo ebiragiro ebijja nga biva mu ofiisi ya Frank Mwesigwa okumulemesa okutambuza ensonga ze.

Kyokka Bukedde bwe yayogeddeko ne Frank Mwesigwa yagambye nti omukyala oyo poliisi yamuyamba okussa ekiragiro kya kkooti mu nkola ng’eragira atwale omwana omuto, omukulu amulekere bba.

Yayongeddeko nti wabula Kimera bw’aba abadde akozesa erinnya lye okutulugunya omukazi n’okulemesa poliisi, tujja ku mukwata avunaanibwe. Bukedde bwe yayagadde okwogerako ne Kimera, yabadde mukambwe.

Abafumbo bano ku Mmande baabadde baakulabikako mu kkooti y'amaka e Nakawa ku ssaawa 8:00 ez'olweggulo ku nsonga z'abaana baabwe ezirudde nga zitaddewo obukuubagano wakati waabwe.

Kyokka Karungi bwe yatuuse ku kkooti ne balooya be, baafunye amawulire nti waliwo abaserikale abaasindikiddwa okumukwata kwe kulinnya emmotoka yaabwe ne bava ku kkooti ne bagenda.

Abaserikale we batuukidde okubakwata, basanze Karungi amaze okuva ku kkooti nga balooya be bamuddusizza.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Looya1 220x290

Lukyamuzi ne Bwanika basabye kkooti...

EYALI omubaka Ken Lukyamuzi atutte akakiiko k’ebyokulonda mu kkooti Enkulu ng’ayagala ekalagira kayise ekiragiro...

Kasimba 220x290

Abeddira akasimba basonda za kuzimba...

Yategeezezza nti ekika kirina enteekateeka y’okuzimba ekizimbe gaggadde ekituumiddwa 'Akasimba Plaza' okukolerwa...

Seb1 220x290

Hanson Baliruno akubye abawagizi...

Hanson Baliruno akubye abawagizi be omuziki ne yeebaza Katonda olw'ekirabo eky'obulamu

Cot1 220x290

Abalamuzi bayimirizza akeediimo...

ABALAMUZI bakyusizza obukodyo bw’okusaba Gavumenti ebongeze emisaala ne bayimirizza n’okwekalakaasa kwe babadde...

Fdc1 220x290

Salaamu Musumba alangidde ababaka...

OMUMYUKA wa Ssabawandiisi wa FDC Salaamu Musumba alangidde ababaka ba Palamenti ‘’obufere’’ n’ategeeza ng’ekibiina...