TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Bazadde b’omuvubuka agambibwa okutta Kirumira bamuwaddeyo

Bazadde b’omuvubuka agambibwa okutta Kirumira bamuwaddeyo

By Musasi wa Bukedde

Added 6th December 2017

JJAJJA w’omuvubuka Kenneth Kalyango agambibwa okwenyigira mu kutemula muto w’omugagga Kirumira akikoze!

Wadde 703x422

Kateregga (ku kkono) ne Mukasa abaakwatiddwa . Ku ddyo ye Kalyango naye yakwatiddwa. Ate mu katono ye mugenzi Kirumira

Bya JOSEPH MUTEBI NE MADINAH NALWANGA

Akutte muzzukulu we n’amuyitira poliisi nga bw’alangirira nti ye tazzukuza bakozi ba bikolobero!

Jjajja Musaasizi Nakato ow’e Kayunga ye yayitidde muzzukulu we poliisi oluvannyuma lw’okugendayo n’amunyumiza ng’omugagga gw’abadde abeera naye bwe yattiddwa mu bukambwe kyokka nga takyajjukira bulungi baamusse ne bwe byabadde.

Ivan Kirumira muto w’omugagga Godfrey Kirumira yatemuddwa mu ntiisa mu kiro ekyakeesezza Ssande abavubuka b’abadde asula nabo bwe baamutemyetemye ne bamutta n’oluvannyuma ne bagenda n’obukadde 50.

Kenneth Kalyango 17 omu ku baabaddewo nga Kirumira attibwa ye yakwatiddwa poliisi ya Kireka oluvannyuma lw’okuweebwayo jjajjaawe.

Omuvubuka ono enzaalwa y’e Kawempe Ttula Zooni, yategeezezza ng’atuuse ku kitebe kya poliisi ya Kira Divizoni nti omugagga bw’amala okuttibwa, yasoose kuddukira wa nnyina eyategeerekeseeko erya erya Benna.

Ono yamusanze ku mwoleso gw’abaana b’essomero erimu n’amuyitiramu ebibaddewo kyokka teyamutaddeko mwoyo na birowoozo.

Nnyina obutamufaako kyamuwalirizza okuddukira e Kayunga n’abiyitiramu jjajjaawe Musaasizi Nakato nti omugagga gw’abadde abeera naye afudde nti era poliisi emunoonya.

Baamukubye ne mu mawulire nti y’omu ku baavuddeko okufa kwa muto wa Kirumira.

Wano jjajjaawe yayise nnyina n’amulagira atwale mangu mutabani we ku poliisi tajja kusobola kubeera na batemu! Kalyango olwawulidde bino n’agezaako okuddukira ku bizinga kwe kumulabuukirira ne bamukwata ne bamutwala ku poliisi.

ENGERI GYE BASSE OMUGAGGA

Eno bwe yatuusiddwaayo yalumirizza munne Derick Kateregga omu ku baasoose okukwatibwa nti ye yapangisizza abantu bataategedde, n’abaleeta awaka ne batandika okutemaatema Ivan Kirumira.

Anyumya: ‘‘Buli Kirumira lw’abadde akomawo awaka, tusooka kumunyigaanyiga mubiri gwonna (massage) olwo ne yeebaka.

Ku luno yakomyewo n’ebyokunywa bye ne tumukola masaagi era olwamaze okubinywa, ne yeebaka ku kapeti wansi ng’atamidde, we baamusanze ne batandika okumutemaatema!

Kalyango bwe yajjukidde wabula yeegaanyi okutwala obukadde 50 omugagga ze yabadde nazo.

Baamusanze n’essimu ejjuddemu ebintu by’obuseegu! Banne be baasoose okukwata okuli Derick Kateregga agambibwa okuluka olukwe lw’okutta ne Kirumira Ivan Mukisa bali ku poliisi e Kira nga bagenda kubakunya bannyonyole bulungi engeri omugagga gye yafudde.

KALYANGO AJJA EWA IVAN KIRUMIRA

Kalyango agambye nti, Ivan Kirumira yali mukwano gwe ku Facebook era oluvannyuma lw’okufuuka mukwano gwe ennyo, yamubuulira obuzibu bwe n’agamba nti asobola okumuyamba, n’amusuubiza okumukolera ‘boutique’ n’okumutwala e Botswana, era Kalyango n’ava ewa bazadde be e Kawempe Ttula n’agenda ewa Ivan Kirumira n’atandika okubeera eyo.

Agamba nti omugenzi we yafiiridde nga ku bye yamusuubiza tannatuukirizaako n’ekimu. Baabagguddeko ogw’obutemu ku CRB 296/2017.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Fub1 220x290

Akulira abadiventi mu nsi yonna...

Akulira abadiventi mu nsi yonna asiimye omulimu ogukolebwa ekkanisa

Mag2 220x290

Madagasacr eyingiddewo okuttunka...

Madagasacr eyingiddewo okuttunka ne KCC

Deb1 220x290

Obuvune busubizza Sadam Jjuma ogwa...

Obuvune busubizza Sadam Jjuma ogwa Madagascar

Hob1 220x290

Villa ento efuuse kimpe nkyekubire...

Villa ento efuuse kimpe nkyekubire

Mbugaprison1 220x290

Mbuga aggaliddwa mu kkomera ekkambwe...

EKKOMERA omugagga SK Mbuga gy’aggaliddwa mu Dubai, liri mu ddungu. Wadde liriko ekitundu esibirwa abaloodi, kyokka...