TOP

Mugabe bamuggyeeko emmotoka y’ekikungu endala

By Musasi wa Bukedde

Added 6th December 2017

ABADDE pulezidenti wa Zimbabwe Robert Mugabe bamuggyeeko emmotoka endala ez’ebbeeyi omuli ne Benz etakubwa bbomu ebalirirwa ssente eza Uganda obuwumbi buna n’obukadde 200.

Paka 703x422

Mmotoka ya Mugabe eyamuggyiddwaako

Mmotoka eno, Mercedes-Benz S600l, kigambibwa nti yaguliddwa mwaka guwedde nga yawemmensi ddoola 1,184,800 (mu ssente eza Uganda (4,295,000,000/-) ng’ebadde emu ku mmotoka ez’ebbeeyi nga 20 ezitayitamu masasi wadde okukubwa bbomu Mugabe z’abadde atambulira nga Pulezidenti.

Ekifuula Benz eno ey’enjawulo mu benz endala ez’ebbeeyi kwe kubeera nti Omugirimaani kyenkana yagipima ku Mugabe nga yagiweeseza okusinziira ku byetaago n’ebiragiro Mugabe bye yaweereza mu kkolero lya Daimler-Benz e Württemberg, Stuttgart.

Omukutu gw’amawulire mu Zimbabwe ogwa Bulawayo24 gwategeezezza nti abaserikale okuva mu kitongole kya Poliisi ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango baanonye Benz eno okuva mu maka ga Mugabe aga Blue Roof ku Mmande.

Ng’oggyeeko Benz eyo, emmotoka endala ze baasuuzizza Mugabe kuliko ne Rolls-Royce Phantom emu ku mmotoka 18 zokka eziri mu nsi yonna.

ABADDE pulezidenti wa Zimbabwe Robert Mugabe bamuggyeeko emmotoka endala ez’ebbeeyi omuli ne Benz etakubwa bbomu ebalirirwa ssente eza Uganda obuwumbi buna n’obukadde 200 Mmotoka eno, Mercedes-Benz S600l, kigambibwa nti yaguliddwa mwaka guwedde nga yawemmensi ddoola 1,184,800 (mu ssente eza Uganda (4,295,000,000/-) ng’ebadde emu ku mmotoka ez’ebbeeyi nga 20 ezitayitamu masasi wadde okukubwa bbomu Mugabe z’abadde atambulira nga Pulezidenti. Ekifuula Benz eno ey’enjawulo mu benz endala ez’ebbeeyi kwe kubeera nti Omugirimaani kyenkana yagipima ku Mugabe nga yagiweeseza okusinziira ku byetaago n’ebiragiro Mugabe bye yaweereza mu kkolero lya Daimler-Benz e Württemberg, Stuttgart. Omukutu gw’amawulire mu Zimbabwe ogwa Bulawayo24 gwategeezezza nti abaserikale okuva mu kitongole kya Poliisi ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango baanonye Benz eno okuva mu maka ga Mugabe aga Blue Roof ku Mmande. Ng’oggyeeko Benz eyo, emmotoka endala ze baasuuzizza Mugabe kuliko ne Rolls-Royce Phantom emu ku mmotoka 18 zokka eziri mu nsi yonna.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Debby2 220x290

Kasalabecca n'olugambo olwokya...

Debbie Sempaka ayogedde lwaki awoomerwa okukunama

Waka 220x290

Sseguya ne Chameleon batabaganye...

JOSEPHAT Sseguya owa Bukedde adding'anye ne Jose Chameleone abaagugulana bwe baali mu kwanjula kwa Catherine Kusasira...

Lead 220x290

Omulangira Ssuuna akutudde ddiiru...

OLUVANNYUMA lw’ebbanga ng’omuyimbi OS (Omulangira Ssuuna) alwana okudda engulu mu nsiike y’okuyimba omubadde n’okufulumya...

Justice 220x290

Olwazaala omusajja n’andeka mu...

NZE Phiona Kevin Nalubwama 27, ndi munnamawulire omutendeke nga nina abaana babiri.

Uni 220x290

Bagudde ku butambi 16 okuli amaloboozi...

AMAGYE agali mu kufeffetta abawamba n’okutta abawala, gakutte obutambi 16 okuli amaloboozi g’abatemu.