TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Gavt. egumizza abantu ku bbula ly'eddagala lya siriimu

Gavt. egumizza abantu ku bbula ly'eddagala lya siriimu

By Muwanga Kakooza

Added 6th December 2017

Gavt. egumizza abantu ku bbula ly'eddagala lya siriimu

Aaaaaaabigjpg703422 703x422

Empeke za Ar Vs

GAVUMENTI  egumizza abakozesa eddagala eriweweeza akawuka ka Siriimu nti eririwo limala bulungi n’esambajja ebibadde biyiting’ana nti lifuuse lya bbula oluvannyuma lw’ensimbi ezibade zikozesebwa okuligula (gavumenti ) okuzzibwa mu birala.

Gavumenti egamba nti emikutu omuyisibwa eddagala lya Siriimu kuliko etterekero lya lyayo  erya ‘Uganda Medical Stores’ ng’eriyita wano lye ligenda mu malwaliro ga gavumenti n’eddala erya ‘Joint Medical Stores ne Medical Access Uganda’ erigenda mu malwaliro agatali gaayo.

Akulira eby’obujjanjabi mu ggwanga  Dr. Henry Mwebesa ategeezezza mu kiwandiiko nti abantu abasinga obungi bakozesa eddagala eriyitira mu malwaliro ga gavumenti  era lisasulirwa ekitongole ky’ensi yonna ekya  Global Fund ng’ate erigenda mu malwaliro agatali ga nannyini lisasulirwa America.

Kyokka yakkiriza nti mu Sepetember wabaddewo  akasoobo mu kuleta eddagala  abantu ne bawebwa lya mwezi gumu mu kifo ky’ebiri.

N’agamba nti eddagala eriretebwa mu ggwanga kati limala bulungi abalina akawuka abatuuse okulikozesa. Yawakanyizza ebigambibwa  nti ensimbi z’okugula eddagala gavumenti yazizza mu birala  n’agamba nti amalwaliro agatali ddagala gakuba essimu etali ya kusasulira  0800-100-066 .

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Hse1 220x290

By’olina okumanya ng’ogula ennyumba...

Kya makulu omuntu akuguza ennyumba okukuwa ppulaani yaayo n’ogiwa omukugu nagyetegereza okukakasa nti ebiriko byagobererwa...

Ssenyonjo 220x290

Poliisi ezudde ebipya ku yatema...

POLIISI ezudde ebipya ku musajja Hamidu Ssennyonjo amanyiddwa nga Munomuno omu ku bagambibwa okuyingirira omugagga...

Mayiga 220x290

Katikkiro alaze engeri ebbula ly’amazzi...

KATIKKIRO wa Buganda, Charles Peter Mayiga ayongedde okukkaatiriza obukulu bw’amazzi mu bulamu bw’abantu n’agamba...

Bazigu1 220x290

Abazigu balumbye amaka e Munyonyo...

ABAZIGU balumbye amaka e Munyonyo ne batemaatema omukozi w’awaka Isa Birimusho n’okumusiba akandooya ne bamuleka...

Magaya 220x290

Abawala 98 banunuddwa ku babadde...

ABEEBYOKWERINDA banunudde abawala 98 ababadde bakukusibwa okutwalibwa mu nsi za bawalabu okukuba ekyeyo.