TOP

Kadaga ayise Abayisirayiri okulamaga e Namugongo

By Muwanga Kakooza

Added 6th December 2017

SIPIIKA Rebecca Kadaga ayise Abayisirayiri okujja mu Uganda okulambula ebifo by’amaddiini nga; ekiggwa ky'Abajulizi e Namugongo n’e Munyonyo kuba ne Bannayuganda beeyunira okugenda mu ggwanga eryo okulambula ebifo ebitukuvu.

Israel10 703x422

Katikkiro wa Yisirayiri Yuli Yoel Edelstein (kkono) ng’akwasa Kadaga ekirabo

Kadaga era agamba nti olutalo lwa Yisirayiri ne Uganda olwaliwo mu 1976 e Ntebe ng’eggwanga eryo linunula abantu baalyo lusaanidde okuba entabiro y’enkolagana y’amawanga gombi.

Bino Kadaga ali  e Yisirayiri yabyogeredde mu lukung’ana lw’abakulira Palamenti z’amawanga agatali gamu n’agamba nti Uganda ne Yisirayiri zonna zirumbibwa abatujju n’olwekyo okulwanagana okwaliwo mu 1976 ng’abatujju bawambye Abayisirayiri kisaanidde okwongera okunyweza enkolagana y’amawanga gombi.

Mu 1976 Abayisirayiri baalumba Uganda e Ntebe ne bagikuba nga banunula abantu baabwe abaali bawambiddwa Amin kyokka n’eggye lya Uganda ne lyerwanako ne litta omu ku baali mu ggye lya Yisirayiri ng’ono ye muganda wa Katikkiro wa Yisirayiri, Benjamin Netanyahu.

Abayisirayiri 248 abaali mu nnyonyi baawambibwa abatujju b’ekibiina kya ‘Popular Front for Liberation of Palestine’ ne babasuula  e Ntebe Yisirayiri we yava okubazzaawo.

Kadaga yagambye nti ng’obulumbaganyi buno tebunnabaawo, Yisirayiri yali eyamba Uganda mu bintu bingi omuli okuzimba n’okulima, n'abasaba okudda beenyigira mu by’obulimi n’amakolero kuba Uganda erimu ettaka ejjimu.

Sipiika wa palamenti ya Yisirayiri, Yuli Yoel Edelstein yagambye nti Palamenti ye etaddewo akabondo akakola ku nkolagana yaabwe ne Africa, era bassa emikono ku ndagaano y’enkolagana yaabwe ne Uganda, Rwanda ne Tanzania.         

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kkeesiwebusebig 220x290

Omugaso gw’okutegeka obulungi omudaala...

Entegeka y'omudaala gwo y'esalawo bakasitoma n'e ssente by'ofuna olunaku

Ashimu2webuse 220x290

Mu kukuba bbandi mwe nfuna ebisale...

Ekitone kyange kinnyambye okutuuka we nnali sisuubira mu kusoma n'okutambula mu bitundu by'eggwanga eby'enjawulo...

Akellofixingacarengineafterassemblingitwebuse 220x290

Omuwala akanika yingini za mmotoka...

Ono omuwala tazannya, akanika yingini ya mmotoka n'aleka kasitoma ng'amunyeenyeza mutwe. Okukanika yakuyigira ku...

Kyeyo 220x290

Abagenda ku kyeyo 54 bakwatiddwa...

MINISITULE y’ensonga z’omunda eraze Bannayuganda 54 abaakwatiddwa ku kisaawe kya Kenyatta International Airport...

Okukyala kw’ennaku zino engeri...

Ennaku zino okukyala kukyuse nnyo ng’omusajja bw’aba teyeenywezezza kuyinza okumulema.