TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Bantaliza avuluze ab'oludda oluganya Gav't ya NRM

Bantaliza avuluze ab'oludda oluganya Gav't ya NRM

By Musasi wa Bukedde

Added 6th December 2017

Bantaliza yagambye nti ab’oludda oluvuganya bye bakola tebabitegeera olw’obutaba na bumanyirivu n’olwekyo eby’okufuga eggwanga basaanidde okubyenenya.

20156largeimg216jun2015125011717703422 703x422

RT. Col Bantaliza

OMUMYUKA w’akulira ekitongole ekivunaanyizibwa ku kusasaanya amawulire ga gavumenti Col. Shaban Bantaliza ajereze ab’oludda oluvuganya nti tebalina bumanyirivu bumala n’olwekyo teri ayinza kubakwasa bukulembeze bwa ggwanga.

Bantaliza yagambye nti ab’oludda oluvuganya bye bakola tebabitegeera olw’obutaba na bumanyirivu n’olwekyo eby’okufuga eggwanga basaanidde okubyenenya.

Yabadde ayogerera mu Hill Top Hotel e Mbale eri abakulembeze b’ekibiina kya NRM abava mu kitundu ky’olusozi Elgon n’e Bukedi.

Lwetabiddwamu ba ssentebe ba NRM aba disitulikiti  n’abakunzi b’abantu mu kibiina.

‘’Tetusobola kuwa bantu batalina bumanyirivu mulimu guno. Obuyinza tulina kubuwa Pulezidenti Museveni y’asobola okutwala ensi mu maaso,’’ Bantaliza bwe yagambye.

Yagambye nti okukoganana okuliwo wakati wa ssentebe ba LC3 n’abaami b’amagombolola kulemesezza enkulaakulana mu bitundu ebimu era kwetaaga okusalirwa amagezi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kkeesiwebusebig 220x290

Omugaso gw’okutegeka obulungi omudaala...

Entegeka y'omudaala gwo y'esalawo bakasitoma n'e ssente by'ofuna olunaku

Ashimu2webuse 220x290

Mu kukuba bbandi mwe nfuna ebisale...

Ekitone kyange kinnyambye okutuuka we nnali sisuubira mu kusoma n'okutambula mu bitundu by'eggwanga eby'enjawulo...

Akellofixingacarengineafterassemblingitwebuse 220x290

Omuwala akanika yingini za mmotoka...

Ono omuwala tazannya, akanika yingini ya mmotoka n'aleka kasitoma ng'amunyeenyeza mutwe. Okukanika yakuyigira ku...

Kyeyo 220x290

Abagenda ku kyeyo 54 bakwatiddwa...

MINISITULE y’ensonga z’omunda eraze Bannayuganda 54 abaakwatiddwa ku kisaawe kya Kenyatta International Airport...

Okukyala kw’ennaku zino engeri...

Ennaku zino okukyala kukyuse nnyo ng’omusajja bw’aba teyeenywezezza kuyinza okumulema.