TOP

Museveni ayogedde ku by'okukyusa Konsitityusoni

By Muwanga Kakooza

Added 6th December 2017

PULEZIDENTI Museveni agambye nti akawaayiro akassa ekkomo ku myaka gy’abaagala ebifo by’obukulembeze katyoboola akalala akawa abantu obuyinza n’eddembe ery’okwerondera omukulembeze gwe baagala.

Dqw1oyrw4aaon1o 703x422

Pulezidenti Museveni ng'annyonnyola akakiiko ka Palamenti ak’ensonga z’ebyamateeka akamutuukiridde mu maka ge Ntebe okumubuuza ku by’okuggyawo ekkomo ku myaka gya Pulezidenti.

Museveni agamba nti akawaayiro akassa ekkomo ku myaka kakontana ne kannewaako akagamba nti obuyinza buli bantu era ne balina okwesalirawo ku nsonga ezitali zimu omuli n’okwerondera omukulembeze gwe baagala.

Agambye nti abantu basaanye balekerwe obuyinza buno balondenga abakulembeze mu kulonda okutegekebwa buli bbanga eggere.

‘’Oba omuntu alonda lwaki talondebwa,’’ Museveni bw'agambye akakiiko ka Palamenti ak’ensonga z’ebyamateeka akamutuukiridde mu maka ge e Ntebe okumubuuza ku by’okuggyawo ekkomo ku myaka gya Pulezidenti.

Konsityusoni egamba nti ayagala Obwapulezidenti alina kuba wakati w’emyaka 35 ne 75. Era bwe kaba tekaggyiddwaamu, Pulezidenti Museveni alina emyaka 73 aba tasobola kuddamu kukulembera ggwanga lino mu 2021.

Palamenti eri mu kukung’anya birowoozo ku bbago ly’etteeka eryaleetebwa omubaka Raphael Magyezi ng’ayagala akawaayiro kano kaggyibwemu.

Ssentebe w’akakiiko kano, Oboth Oboth (West Budama South) agamba nti Pulezidenti Museveni baamutukiridde mu bukulu bwe ng’akulira NRM ate eyeesimbawo ku Bwapulezidenti.

Rt. Col. Dr. Kiiza Warren Kifefe Besigye naye eyaakeesimba ku Bwapulezidenti enfunda eziwera teyagenda mu kakiiko kano.

Kyokka Oboth Oboth agambye nti Pulezidenti Museveni ye mujulizi asembyewo okuwa ebirowoozo mu kakiiko.

Museveni  agambye nti amawanga mangi okuli; Amerika, China, Russia ne Yisirayiri baakulemberwako abantu abakadde we gaabeerera mu kaweefube w’okwekulaakulanya.

Annyonnyodde nti e Tunusia omukulembeze ow’emyaka 91 Beji Caid Essebsi yalondebwa okutereeza eggwanga lino nga litaaguddwataguddwa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mm 220x290

Kkampuni zisaze omusolo ku ‘Mobilemoney...

KKAMPUNI z’amasimu zitandise okussa mu nkola etteeka ly’okukendeeza gwa ‘mobile money’ (Airtel money, Africel Money...

Monicangalagaobutungulubwatunda500webuse 220x290

Ekigwo ekimu tekyandobera kuddamu...

Omulimu gw'okufumba bwe gwanzigwako tekyandobera kutandika kulimira wafunda era kati nasituka dda sirina agoba....

Skull 220x290

Bamukutte n’akawanga

OMUSAJJA eyasangiddwa n’akawanga k’omufu gamumyuse. Abatuuze baamulinye akagere ne bamukwata n’ekisawo mwe yabadde...

Muhangi3 220x290

Muhangi akkirizza okusisinkana...

OMUGAGGA Charles Muhangi awadde abasuubuzi abakolera ku bizimbe bya Qualicel(Horizoni city) ne Nabukeera (Bazannya...

Zaina2webuse 220x290

Obwakondakita bwamponya ennaku...

Okukola obwakondakita nga ndi mukazi kinnyambye okulabirira abaana bange ate n'okuyiga bwe bakolagana n'abantu...