TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Be baalongoosezza e Mengo ne bafa batadde akazito ku ddwaaliro

Be baalongoosezza e Mengo ne bafa batadde akazito ku ddwaaliro

By Musasi wa Bukedde

Added 7th December 2017

Be baalongoosezza e Mengo ne bafa batadde akazito ku ddwaaliro

Lab3 703x422

Omugenzi Kikungwe.

MINISITA Sarah Opendi agambye nti agenda kulagira olukiiko olufuga abasaso mu ggwanga okunoonyereza ku basawo abaalongoosezza abantu mu ddwaaliro lya Mengo Hospital omwezi oguwedde abamu ne bafa okwabadde n’omuwanika wa DP Hajji Isa Kikungwe.

Kiddiridde Dr. Asadu Sentongo okuvaayo n’asaba eddwaaliro ly’e Mengo lifulumye ekiwandiiko nga bannyonnyola ebikwata ku basawo bano abaalongoosezza abalwadde. Dr. Ssentongo yabadde ku Bukedde TV nga yeebuuza engeri abasawo abatamanyiddwa gye baayingira mu Uganda ne balongoosa abantu ne bamala ne badda ewaabwe nga tewali abakubye ku mukono so ng’abantu be bakozeeko bagenda bafa omu kw’omu era nga kiteeberezebwa nti kyava ku ngeri gye baabalongoosezzaamu.

Kikungwe yeevuze mu mmotoka n’agenda mu ddwaaliro bamulongoose ekizimba ku bwongo naye olwamulongoosezza teyazze ngulu. Abalala be baalongoosezza kuliko Ismail Sekyanzi ow’e Wandegeya naye yafudde ne Hajji Mustafa Kisaayire eyafudde n’aziikibwa e Butambala. Hajji Abdallah Lukubi yannyonnyodde nti baatutte Kisaayire mu Albert Cook e Mengo ne bamulongoosa.

Era agamba nti baamulongoosezza wamu n’abantu abalala 28 kyokka 13 ku bo bafudde. Dr. Ssentongo yagambye nti nga tebannagenda mu kkooti kuwawaabira ddwaaliro, bubeera buvunaanyizibwa bwa ddwaaliro okufulumya ekiwandiiko kuba yafunye obukakafu nti abaalongooseddwa baabayingizza mu kisenge kimu kirindi.

Nti nga bayingiza abantu mukaaga oba bana ne babafulumya ng’obumese. Abasawo Abazungu abantu be beemulugunyaako nti be baalongoosezza abantu kigambibwa nti baavudde mu Stanford University California ne Duke University northern California Amerika. Dr. Rose Mutumba akulira eddwaliro ly’e Mengo ku mawulire Agataliiko Nfuufu yategeezezza nti baabadde bagenda kufulumya ekiwandiiko ekitongole ku mbeera eyo.

DR. ANNYONNYODDE EMITENDERA MWE BAYITA OKUKKIRIZA OMUSAWO Dr. Charles Kasozi okuva mu ddwaaliro e Mulago yagambye nti abasawo mu Uganda baluhhamizibwa n’okulondoolwa olukiiko lwa Uganda Medical and Dental Practitioners Council (UMDPC) era omuwandiisi waalwo ye Dr. Katumba Ssentongo ng’ateekebwawo minisitule y’ebyobulamu.

Dr. Kasozi agamba nti omusawo avudde ebweru w’eggwanga alina okutwala empapula ze mu lukiiko luno ne zeekebejjebwa. Ateekayo okusaba n’alaga oba ayagala kukolera mu Uganda okumala ekiseera ekigere oba ayagala kubeerawo lubeerera. Bwe bamukkiriza, bamusindika mu ddwaaliro gy’agenda okukolera kyokka bamuteekako omukugu amuli waggulu n’alondoola emirimu gy’akola okukakasa oba by’akola bituufu aleme kukosa b’ajjanjaba.

MINISITA AYOGEDDE Minisita Sarah Opendi yategeezezza Bukedde nti agenda kulagira UMDPC bakole okunoonyereza ku basawo bano abantu be beemulugunyaako baweeyo lipooti. Bwe kizuulibwa nti baaliko obuzibu obwaviirako abantu okufa, bagenda kukwatagana n’ekitebe kya Amerika mu Uganda babalondoole.

Era ayagala okukakasa oba baayita mu mitendera nga bajja okuwa obujjanjabi mu Uganda kuba enkola egobererwa, balina kusooka kukasibwa minisitule y’ebyobulamu nga tebannalongoosa bantu. Yasabye abehhanda z’abaafudde ng’obuzibu buvudde ku kulongoosebwa kwe baafunye mu ddwaaliro e Mengo bateekeyo okwemulugunya kwabwe mu lukiiko lwa UMDPC mu buwandiike

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bo1 220x290

Bobi Wine wakuvunaanibwa mu kkooti...

Bobi Wine wakuvunaanibwa mu kkooti y'Amagye

Index 220x290

Ebya Bobi Wine bibi! Agenda kuvunaanibwa...

Ebya Bobi Wine bibi! Agenda kuvunaanibwa kkooti y'amagye lwa kulya mu nsi ye lukwe

39248881101567630827890782826876916504461312n 220x290

Poliisi eraze emmundu bbiri, basitola...

Poliisi eraze emmundu bbiri, basitola n'amakerenda g'eyise enjaga ewa Bobi Wine:'Twabisanze mu wooteri mw'abadde...

Shecranes03 220x290

She Cranes ekubye Malawi mu za...

SHE CRANES ttiimu y’eggwanga ey’okubaka enkya ya leero eyongedde okulaga nga bw'eri emmalirivu okusigaza engule...

Hip1 220x290

Nnansi agenze ku ndagu okutereeza...

Nnansi agenze ku ndagu okutereeza amaka ne bamubba