TOP

Balumbye amaka ne batuga bbebi

By Musasi wa Bukedde

Added 7th December 2017

Balumbye amaka ne batuga bbebi

Kit 703x422

Patience Lakija ( ku kkono) Joyceline Kaija Akidi ne Collins Kaijja n’ekifaananyi ky’omwana eyatiddwa.

ABASAJJA olwatuuse awaka, hawusigaalo yasoose kubayita bagenyi! Yabadde akyebuuza eky’okubakolera kuba bakama be tebaabaddewo ne bamuvumbagira ne bamusiba emikono n’amagulu n’okumussa ekiwero mu kamwa nga tayinza kukuba nduulu.

Wakati mu ntiisa eno, yasigadde awulira ekigenda mu maaso. Abasajja baatandise okusamba enzigi nga balinga abaliko kye banoonya okutuusa omu lwe yatuuse mu kisenge omwabadde bbebi.

Yamusanze yeebase kwe kugamba munne nti ono omwana ng’alabika bulungi oba tumuleke? Eyabuuziddwa kwe kumuboggolera nti “kola mangu ekyakulese tova ku mulamwa, era wano omusajja kwe kukwata akatto n’akassa ku mutwe gw’omwana n’amutuulako.

Omwana yakaabyemu katono n’asirika! Obwedda ebigenda mu maaso nga mukaziwattu hawusigaalo abiwulira naye nga tasobola kwogera kuba baabadde bamusonsese ebiwero mu kamwa.

Ettemu lino lyabaddewo ku ssaawa 7:00 ez’emisana ku Lwomukaaga oluwedde mu maka ga Collins Kaija mu Kasaana Zooni e Kulambiro mu Munisipaali y’e Nakawa. Omwana eyattiddwa ye Damascus Ahimbisibwe ow’emyezi 11 gyokka. Patience Lakija, hamusigaalo mu maka ga Kaija ng’ono ye yabadde akuuma omwana yategeezezza nti, abatemu bwe bazze baasoose kwefuula bagenyi ate amangu ago ne bategeeza nti baagala ssimu.

Yagambye nti yabadde akyababuuza essimu gye boogerako gy’eri omu ku basajja n’amubuukira n’amukwata ng’ekyaddiridde kumussa kigoye mu kamwa ate banne ababiri bwe baabadde ne bamusiba emiguwa emikono n’amagulu ne bamusindika wansi w’ekitanda.

Yagambye nti bwe baamaze okutuga omwana omu ku basajja yakutte akatebe n’akakuba ku ttiivi n’okusaasaanya ebintu by’omu nnyumba. Yategeezezza nti ku ssaawa nga 9:00 ez’olweggulo baafulumye mu nnyumba nga baamulese bamusibye emiguwa nga n’ekigoye kikyali mu kamwa. Yategeezezza nti yabadde akyali mu nnyumba yawulidde baliraanwa nga bayitawo kwe kwewalula mpolampola n’afuluma ennyumba nga akyali ku miguwa gye bamusibye. Baamusumuludde n’abannyonnyola ebyabaddewo n’ategeeza nga bw’atamanyi ky’abadde kiyuuse ku mwana oba akyali mulamu oba baamusse.

Baamulagidde addeyo alabe omwana bw’ali kyokka yagenze okutuuka ku mwana nga tamutegeera n’atema omulanga era baliraanwa ne bajja okulaba ekyabadde kiguddewo.

Lakija yagambye nti baliraanwa baamuyambyeko okutwala omwana mu kalwaliro ka Span e Kisaasi kyokka abasawo baagenze okumukebera nga yafudde dda. Wabula Lakija yagambye nti omu kubasajja abaabalumbye yamwetegeereza nga y’omu ku basima ekinnya kya kazambi ku muliraano.

Taata w’omwana Collins, Kaija yagambye nti omwan we okuttibwa yabade taliiwo nga balina we bagenze ne mukyala we Joyceline Akidi era muliraanwa ye yebaukubudde essimu n’abategeeza amawulire gano.

Kyokka yasoose kubagamba ng’omwana bw’ali mu mbeera embi ne babasaba okumutwala mu ddwaaliro. Kaijja yategeezezza nti talina mpalana yonna n’abantu ku kitundu kw’abeera wadde ku mulimu era ekigendererwa ky’abasse omwana we kikyamulemye okutegeera.

Yagambye nti okuva omwana we bwe yatibwa bali mu kutya nga tebamanyi kigendererwa ky’abatemu nga balowooza nti bandiddamu okubalumba ne babatta nga famire.

Baasabye poliisi okubawa obukuumi mu maka gaabwe ne mu kitundu kuba okuttibwakw’omwana waabwe ku kyabamazeeko amagezi. Maama w’omwana Joyceline Akidi yagambye nti bwe batuuse mu ddwaaliro gye baabagambye nti omwana gy’atwaliddwa amaaso gaagudde ku mwana we ng’afudde amagezi ne gamwesiba.

Yagambye nti okuva omwan we bwe yattiddwa tannaba kukomba ku mpeke y’ottulo nga yeebuuza ekigendererwa ky’abatemu ne kye baabakola okubasasula mu ngeri eno. Poliisi omulambo yasoose kugutwala mu ggwanika e Mulago eno gye gwaggyiddwa ne bamuziika e Katungo mu disitulikiti y’e Masindi.

POLIISI ENNYONNYODDE Luke Owoyesigyire, omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano yategeezezza nti okunoonyereza ku ttemu lino kwatandise nga n’abazadde bajja kwongera okubaako bye bababuuza. Yagambye nti baagala okuzuula oba waliwo obutakkaanya mu famire eno kuba abatemu basse mwanawa waka yekka ne balekawo hamusigaalo nga tebalina kye bamukoze.

Yagambye nti omusajja hawusigaalo gwayogerako bagenda kumunoonya okusobola okuzuula ekituufu. Yasabye n’abantu abalala abalina amawulire agasobola okubayamba okukwata abatemu okutuukirira poliisi yonna eri okumpi n’asuubiza nga poliisi bw’ejja okwongera obukuumi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Burn 220x290

Gen. Kayihura ayagala amateeka...

OMUDUUMIZI wa poliisi mu ggwanga Gen. Kale Kayihura asabye okuyusa mu mateeka okusobola okuvunaana muntu akwatiddwa...

Xlarge514749 220x290

Omuzungu eyali ne munne n'afiira...

OMUZUNGU munnansi wa Finland Suvi Linden, eyali ne munne Terasvouri Tuomas Juha Patteri, eyasangibwa ng’afiiridde...

Linda1 220x290

Abadde yeerimbika mu banene n’abba...

POLIISI ekutte omuvubuka abadde yeerimbika mu byokwerinda n’okweyita owooluganda lw’abantu ababa bategese emikolo...

Pala 220x290

Omujulizi aguddemu ekidumusi omusango...

OMUJULIZI abadde azze okulumiriza Abasiraamu mu musango gw’obutujju n’okulya mu nsi olukwe alumbiddwa embiro kkooti...

Kabi 220x290

Abajaasi bakkirizza okwagala okuwamba...

BANNAMAGYE bana abavunaanibwa omusango gw’okulumba enkambi y’amagye e Kabamba ne Kalama n’ekigendererwa ky’okuwamba...