TOP

Ekiragiro kya Trump okugoba abagwira kitandise

By Musasi wa Bukedde

Added 7th December 2017

Ekiragiro kya Trump okugoba abagwira kitandise

Tr1 703x422

EKIRAGIRO kya Pulezidenti wa Amerika, Donald Trump ekiwera abagwira okuva mu North Korea n’agamu ku mawanga ag’Abasiraamu okulinnya mu Amerika kitandise okukola.

Trump yalagira nti teyeetaaga muntu yenna okuva mu Iran, Libya, Syria, Yemen, Somalia, Chad, North Korea ne Venezuela okulinnya ekigere ku ttaka lya Amerika. Kkooti ey’oku ntikko mu Amerika yalagidde ekiragiro kino Trump kye yawa mu September 2017 okutandika okukola ku Mmande nga December 4, 2017.

Ekiragiro kyalina okutandika okukola nga October 18, 2017 kyokka ab’ebibiina ebirwanirizi by’eddembe ne bannamateeka mu masaza ag’enjawulo ne baddukira mu kkooti ne kiyimirizibwa. Kati kkooti ey’oku ntikko eragidde kissibwe mu nkola ng’emisango egikiwakanya bwe giwulirwa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

St1buk250518 220x290

BUKEDDE W’OLWOKUTAANO YAFULUMYE...

Mulimu ebipya ku batta abawala omuli obujulizi obubalumiriza kyokka nga butiisa.

Save 220x290

Museveni ayogedde ku bawamba abawala...

Pulezidenti agambye nti abatemu abawamba abawala ne babatta babafunzizza era gwe basembyeyo okukwata yabadde n’emirambo...

Whatsappimage20180524at20027pm 220x290

Abadde alimbalimba omuyizi wa S.4...

Emirimu gisannyaladde okumala akaseera mu ppaaka enkadde mu kibuga Kampala abagoba ba takisi abakolera ku siteegi...

Isabeti4 220x290

Yeemulugunyizza ku mutindo gwa...

OMUTEDENSI wa KIU Henry Kyobe akukkulumidde akakiiko akaddukanya omuzannyo gwa Beach Soccer olw’enzirukanya etamatiza...

Kasangati 220x290

Bawambye omuwala omulala e Kasangati...

ABAWAMBA abantu beesomye luno, bawambye omukazi omulala e Kasangati ne basaba obukadde 10, kyokka olubaweerezzaako...