TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Museveni awagidde okuggya ekkomo ku myaka gya Pulezidenti

Museveni awagidde okuggya ekkomo ku myaka gya Pulezidenti

By Musasi wa Bukedde

Added 7th December 2017

Museveni awagidde okuggya ekkomo ku myaka gya Pulezidenti

Kim1 703x422

Pulezidenti Museveni

PULEZIDENTI Museveni awagidde eky’okuggya ekkomo ku myaka gy’omukulembeze w’eggwanga n’ategeeza nti Bannayuganda balina okulekerwa eddembe beesalirewo ku muntu asaanidde okubakulembera.

Museveni eyasisinkanye ababaka abatuula ku kakiiko k’eby’amateeka ku Lwokubiri e Ntebe, yategeezezza nti okuteeka ekkomo ku kifo ky’obukulembeze kyonna, kiba kimenya ennyingo esooka eya ssemateeka wa 1995 awa abantu obuyinza.

Olw’okuba Bannayuganda be bakuuma Ssemateeka w’eggwanga, balina okulekebwa obuyinza ku ngeri n’omuntu asaanidde okubakulembera nga balonda buli luvannyuma lw’ekiseera ekigere. Museveni yagambye nti talaba buzibu lwaki bagaana omuntu okwesimbawo olw’emyaka, kyokka nga bamukkiriza okwetaba mu kulonda.

Ababaka baabadde bagenze kufuna birowoozo bya Pulezidenti ku ky’okukyusa Ssemateeka w’eggwanga naddala ennyingo ya 102 (b) eruubirira okuggya ekkomo ku myaka gya Pulezidenti.

Ekiteeso kino ekiri mu Palamenti kyaleetebwa Raphael Magyezi, omubaka wa Igara West. Jacob Oboth Oboth (West Budama South), ssentebe w’akakiiko eyakulembedde ababaka ba Palamenti yategeezezza nti kino baakikoze kuba baabadde beetaaga ebirowoozo bya Pulezidenti ng’eyavuganyaako ku ntebe y’omukulembeze era omukulembeze w’ekibiina.

Yagambye nti Pulezidenti ye muntu gwe baasembyeyo okusisinkana nga bakuhhaanya ebirowoozo ku nnongoosereza ez’okussa mu Ssemateeka w’eggwanga. Akakiiko kati kagenda kwemalirira ku kya kuwandiika lipooti eyawamu egenda okwanjulwa mu Palamenti. Ababaka baabuuzizza Pulezidenti ku nsonga ez’enjawulo n’abategeeza nti amawanga mangi agaakula nga Amerika, Russia, Israel, China okutuuka we gali gaakulemberwa abafuzi abaali bakuze mu myaka nga balina n’obumanyirivu.

Yawadde eky’okulabirako kya Churchhill owa Bungereza eyakulembera okutuusa ku myaka 81 ne Beji Caidi Essebsi owa Tunusia eyagikulembera ku myaka 91. Bwe yabuuziddwa oba Gavumenti erina enteekateeka y’okussaawo akakiiko akakuh− haanya ebirowoozo by’abantu ku nnongoosereza zonna awamu, yagambye nti yalagira minisita w’ensonga za Ssemateeka okukikolako.

Yagambye nti Gavumenti yasalawo okuwagira ebbago lya Magyezi kuba baakizuula ng’obudde obwali buweereddwa kkooti okukola ennongoosereza bwali buweddeyo. Museveni yasabye abantu obutatabiikiriza buweereza ku bukulembeze n’agamba nti emirimu gy’abantu abamu ng’abalamuzi gyetaaga obukugu obwenjawulo ate Obwapulezidenti bwanjawulo.

Ku ffujjo eryayolesebwa ababaka b’oludda oluvuganya bwe baalwanira mu Palamenti yagambye nti kiva ku kuba nga tebaalina birowoozo bizimba bye basobola kugamba bantu. Yawakanyizza n’abantu abalina endowooza nti okwesimbawo ng’ali mu buyinza kirina engeri gye kimuyambako n’ategeeza nti si kituufu. Yayogedde ku bantu abalowooza nti wandibadde bazzaawo ekkomo ku bisanja n’agamba nti mu kiseera kino si y’ensonga enkulu ey’okukolako.

Pulezidenti yalaze nti talina buzibu ku kya kwongeza kisanja kya buweereza okuva ku myaka etaano okutuuka ku musanvu. Yagambye nti abakulembeze mu Afrika baba n’ebintu bingi eby’okukolako n’ategeeza nti takirabamu mutawaana.

Ku kigambibwa nti ennongoosereza zireeteddwa kuyamba ye ng’omuntu yakisambazze n’ategeeza nti n’abantu abatannaweza myaka 75 bagenda kuweebwa omukisa okwesimbawo. Ababaka baasuubizza Pulezidenti nga bwe bajja okuteeka ebirowoozo bye mu lipooti gye bagenda okuwandiika.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Pp 220x290

Abayimbi Bannayuganda battunse...

Abajamaica;Christopher Martin ne D-Major bakubye Bannayuganda emiziki egibaccamudde

Hse1 220x290

By’olina okumanya ng’ogula ennyumba...

Kya makulu omuntu akuguza ennyumba okukuwa ppulaani yaayo n’ogiwa omukugu nagyetegereza okukakasa nti ebiriko byagobererwa...

Ssenyonjo 220x290

Poliisi ezudde ebipya ku yatema...

POLIISI ezudde ebipya ku musajja Hamidu Ssennyonjo amanyiddwa nga Munomuno omu ku bagambibwa okuyingirira omugagga...

Mayiga 220x290

Katikkiro alaze engeri ebbula ly’amazzi...

KATIKKIRO wa Buganda, Charles Peter Mayiga ayongedde okukkaatiriza obukulu bw’amazzi mu bulamu bw’abantu n’agamba...

Bazigu1 220x290

Abazigu balumbye amaka e Munyonyo...

ABAZIGU balumbye amaka e Munyonyo ne batemaatema omukozi w’awaka Isa Birimusho n’okumusiba akandooya ne bamuleka...