TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Geofrey Kayemba maneja wa Remah ne Evans atumbudde ebitone e Bukomansimbi

Geofrey Kayemba maneja wa Remah ne Evans atumbudde ebitone e Bukomansimbi

By Ponsiano Nsimbi

Added 8th December 2017

Geofrey Kayemba maneja wa Remah ne Evans atumbudde ebitone e Bukomansimbi

Kay1 703x422

Geofrey Kayemba ng'akwasa abasambi b'omupiira emijoozi e Bukomansimbi

GEOFREY Kayemba, maneja w’abayimbi Rema Namakula ne Chris Evans ng’ate kitunzi w’abasambi b’omupiira mu nsi z’ebweru  ssaako eky'okubeera omubaka atunuuliddwa okukiikirira abantu b'e Bukomansimbi South agaanyi abavubuka b’omu kitundu gy’azaalwa okukonera mu byalo.

Atandise okubakwatako ng’abategekera empaka z’emizannyo egyenjawulo okusunsulamu abalina ebitone abayambeko okubikulaakulanya.

Ku wiikendi yategese empaka z’omupiira ezaatuumiddwa  ‘‘Kayemba Geofrey Talent Search Christmas Cup’’ ezeetabiddwamu ttiimu ez’enjawulo okwabadde Mirambi, Maleku, Kisojjo, Kiryasaaka ne Butayunja okuva mu miruka etaano mu ggombolola y’e Kibinge.

Kayemba eyabadde n’omubaka omukazi owa Bukomansimbi, Veronica Nannyondo yagambye nti asazeewo okudda mu kyalo akwate ku bavubuka abalina ebitone mu kukyanga omupiira abafunire ttiimu ez’amaanyi mu ggwanga n’ebweru okulongoosa ennyingiza yaabwe n’oluvannyuma nabo bakwate ku bannaabwe.

Ate omubaka Nannyondo yagambye nti eno ntankikwa nnene eri abavubuka kubanga bangi ebiseera ebisinga babadde babimala mu kukuba zzaala na kusiba bupapula mu kifo ky’okutumbula ebitone byabwe.

Baawerekeddwaako: Ssentebe wa disitulikiti y’e Bukomansimbi, Hajji Kateregga, bannabyamizannyo David Tamale eyali akulira Club ya KCCA, eyaliko omuzannyi wa ttiimu y’eggwanga era omutendesi Paul Nkata, Patricko Mujjuuka, Kazibwe Kapo ne Ahmed Kayiwa owa Satellite Studio n’abalala.

Tamale yawaddeyo emipiira 30 ate Nkata agenda kulondamu abazannyi bataano bongere okutendekebwa n’okubafunira ttiimu ennene. Oluvannyuma Kazibwe Kapo yasumuludde omuziki ne babinuka masejjere. Kayemba n’omubaka Nanyondo ttiimu baaziwadde emijoozi.

Empaka ezakamalirizo zakubeerawo ku Christmas ng'omwanguzi wakusitukira mu sseddume w'ente ne kikupo ate anakwata ekyokubir wakuwangula mbuzi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kib11 220x290

Ba Kansala ku district e Kiboga...

Ba Kansala ku district e Kiboga bakubye ebituli mu budget ya District

Capture 220x290

Emitimbagano gya Vision Group gyakuvaako...

Emitimbagano gya Vision Group okuli ogwa bukedde.co.ug ne newvision.co.ug gyakuggalawo ku wiikendi eno okutandika...

Br3 220x290

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya...

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya abaali abakozi be zisajjuse

Kit1 220x290

Engeri akasaawe k'e Mulago gye...

Engeri akasaawe k'e Mulago gye kaalera Jimmy Kirunda

Jit1 220x290

Afiiridde mu kibanda kya firimu...

Afiiridde mu kibanda kya firimu e Mukono