TOP

Omuliro gusaanyizzaawo ekizimbe e Bugoloobi

By Musasi wa Bukedde

Added 8th December 2017

Omuliro gusaanyizzaawo ekizimbe e Bugoloobi

Mu1 703x422

OMULIRO gwazinzeeko ekizimbe kya ISO Park ekisangibwa ku 5th Street mu Industrial Area e Bugolobi ku ku lwokusatu negusaanyawo ebintu bya buwumbi na buwumbi bwa Ssente.

Ekizimbe kino eky’omugagga Alli Ochola Pinyamoi  kiriko emizigo etaano nga buli gumu gwapangisibwa abayindi ababadde baazifuula etterekero ly’ebintu eby’enjawulo okuli empiira ezikozesebwa mu byuma okutambuza beeringi, baterekamu emikebe gya Langi, Tayilozi, ebibaawo okutuuzibwa ebintu mu madduuka , embaawo ezizimba n’ebintu ebirala bingi wabula nga bino byonna byafuuze muyonga.

Hunjani Singh akuuma n’okulabirira ebintu ebiterekebwa mu kizimbe kino agamba nti essaawa zaabadde ziwera ng’emu n’ekitundu ez’akawungeezi ku lwokusatu bwe yabadde avudde ku budduuka e Bugoloobi,bwe yali avaawo yaleka amasanyalaze tegaliiko wabula yagenda okudda nga gakomyewo naye bwe yali ayambuka okugenda mu kifo mw’asula ekiri waggulu ku kizimbe kino, yagenze okulaba omukka ogufuluma okuva mu gumu ku mizigo egiterekebwamu empiira ezikozesebwa okutambuza Beeringi
z’ebyuma.

Agamba nti yakubira essimu nnanyini kizimbe Ochola olw’ensonga nti yali talina bisumuluzo bya kisenge kino omwali mufuluma omukka olw’omuyindi nnanyini mmaali eyabadde eterekebwamu okubeera nga yali annyuse n’abakozibe bonna wabula nnanyini kizimbe yagenze okutuuka

oluvannyuma lw’eddakiika 30 ng’omukka guzinzeeko omuzigo gwonna munda. Ochola nga yakulira Kampuni ettuusa konteyina ezitambulizibwamu ebyenyanja okuva mu Uganda okubitwala mu Nsi z’ebweru eya Regent Development Companies Limited nga nayo ebadde ku kizimbe kino yategeezezza nti yasobeddwa bwe yatuuse ku kizimbe ng’omukka gujjudde munda era kwe kukubira Poliisi ya Industrial Area eyakubidde abazinya mwoto okuva mu Kampala abaatuuse mu bbanga lya ssaawa bbiri wabula

baagenze okuleeta ebimotoka ng’omuliro gumaze okuzingako ekifo kyonna.

POLIISI EYOGEDDE
Joseph Mugisha akulira abasirikale b’ekitongole ekizikiriza omuliro mu Kampala ekya Fire and Rescue Service agamba  nti omuliro kwe gwavudde tekinategeerekeka naye nga baagezezzaako okugulwanyisa nga beegatiddwaako aba Pinnacle Fire Rescue Services n’aba International Air Ambulance Fire Services kwe kulaba nti ku mizigo ettaano egiri ku kizimbe kino,esatu gyasobodde okutaasibwa n’emmaali yaamu obutasirikkira mu muliro.


Yagasseeko n’alabula abalina amakolero n’ebifo byonna ebikozesa amasannyalaze nti singa gabeera gavuddeko,buli kintu ekikozesa amasanyalaze kiba kirina okuggyibwako na buli Switch eri mu Kizimbe kuba buli bwe gakomawo,negasangako Switch zino omuliro gusobola okubalukawo kuba oluusi gadda n’amaanyi mangi.


More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omwala2webuse 220x290

Ab'e Kansanga beeraliikirivu olw'omwala...

Abatuuze e Kansanga mu Makindye beeraliikirivu olw'omwala ogwasalamu ekkubo gwe bagamba nti gwandigwaamu abaana...

Babaka1 220x290

Sipiika tuyambe naffe baagala kututta...

ABABAKA ba Palamenti musanvu baddukidde ewa Sipiika nga balaajana nti waliwo ababalondoola abaagala okubatta nga...

Kasasiro11webuse 220x290

Ab’obuyinza batadde amateeka amakakali...

Kasasiro mu kibuga Mukono yeeraliikirizza abakulembeze n'abatuuze ne basaba Gavumenti ebayambe

Besigye1 220x290

Poliisi e Jinja ezzeemu okulemesa...

POLIISI e Jinja ezzeemu okukwata eyaliko pulezidenti w’ekibiina kya FD, Dr. Kizza Besigye n’emuggalira ku poliisi...

Abapangisa aba boda ne babatta...

Omu bamutuze omulambo ne bagwokya mu maaso