TOP

Ababbi batigomezza ab’e Goma - Mukono

By Musasi wa Bukedde

Added 8th December 2017

Ababbi batigomezza ab’e Goma - Mukono

Nju1 703x422

ABEEBIJAMBIYA baasuzizza abatuuze b’e Jinja - Misindye, Nabusugwe e Goma mu disitulikiti y’e Mukono nga tebeebase. Ababbi abaabadde batambulira mu kibinja nga bakutte obubazzi, ebijambiya, obusumeeni obusala ebyuma n’ebissi ebirala, abatuuze baabalabye nga beekalakaasizza ku kyalo amatumbi budde n’oluvannyuma ne balumba amaka ga Martin Emitu.

Okuyingira mu maka ga Emitu baalinye ekikomera ne bagwa munda nga baasoose kwasa ndabirwamu z’oluggi ne basala emitayimbwa ne bayingira munda. Emitu yagambye nti bwe baatuuse mu ddiiro baatemye oluggi oluyingira mu bisenge nga bakozesa obubazzi ne batandika okunyagulula ebintu by’omu nnyumba nga tewali abakuba ku mukkono.

Mukyala wa Emitu yagambye nti zaabadde ssaawa 7:30 ez’ekiro abasajja bano ne bawalampa ekikomera ne baggwa munda ne beeyawulamu ng’abamu baatuukidde ku luggi ne batandika okulutema nga kyabatwalidde eddakiika nga nnya zokka ng’abalala baasigadde ku kikomera nga bakyetoolodde. Yannyonnyodde nti yawandiikidde banne obubaka ku ssimu ng’abategeeza ng’ababbi bwe babalumbye.

Balina omukutu gwe bassaawo ng’abatuuze ogw’ebyokwerinda nga buli atuukibwako ekizibu ategeeza abali ku mukutu guno ne basobola okusaasaanya amawulire n’okutegeeza poliisi mu bwangu.

Yagambye nti be yasindikidde obubaka baayanguye okutegeeza poliisi nayo eyasitukiddemu n’etuuka awaka nga yasanze ababbi bafuluma n’omunyago gwabwe.

Poliisi yakubye amasasi mu bbanga ababbi ne badduka n’eyabadde akutte ttivvi n’agisuula. Munnaabwe eyabadde asembye emabega yalemeddwa okufuluma ne yeekweka emabega wa kayumba k’embwa.

Baasoose kulwooza nti ababbi bonna badduse kyokka embwa yasigadde eboggola obutasalako ekyawalirizza poliisi okugendayo n’emusanga nga yeekukumye emabega w’akayumba k’embwa.

Omubbi olwalabye poliisi n’agezaako okubuuka ekikomera adduka poliisi n’emukuba amasasi agaamukwasizza mu mutwe n’afa. Emitu yagambye ababbi olwatuuse mu nnyumba baatandikiddewo okumukuba n’omusamba nga bwe bamusaba ssente, kompyuta, essimu nga baasoose kuwanulayo ttivvu waggulu gye yabadde.

Yategeezezza nti poliisi we yatuukidde nga bakyamukanda ssente era olwawulidde amasasi nga gavuga ne badduka nga baasudde ebimu ku bye baabadde banyaze ne dinsite ng’eri mu mannya ga Joseph Nandera n’essimu. Wiiki ssatu eziyise ababbi baakozesezza enziba y’emu nga baalumbye amaka ataano ne batema abatuuze

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Siminyu703422 220x290

Ab'ekitongole ekigaba paasipooti...

KAMISONA Brig. Johnson Amanya avunaanyizibwa ku Paasipooti n’okulondoola abasaba obutuuze, yategeezezza Bukedde...

Funa 220x290

Eddiini yannemesa ekyana

ENSONGA z’eby’omukwano tezimbeeredde nnyangu okuviira ddala nga naakatandika eby’okwagala.

Lukwago 220x290

‘Twagala kumanya musaala gwa Byamukama’...

LOODI meeya Erias Lukwago ne Male Mabiriizi batutte okusaba mu kkooti nga baagala kkooti ebawe fayiro y’akulira...

Worship 220x290

Abantu beemulugunya ku bukambwe...

BANNAKAMPALA balaze obutali bumativu ku bikwekweto ebikolebwa ekitongole ky’amasannyalaze ekya UMEME ku babba amasannyalaze...

Wash 220x290

Abawala b’e Nansana 2 bafi iridde...

JUSTINE Namigadde 32 yalekawo abaana be n’agenda mu ggwanga lya Saudi Arabia okukola emirimu gya waka ng’asuubira...