TOP

Ssemaka bamukutte mu bwenzi n’akawala

By Musasi wa Bukedde

Added 8th December 2017

Ssemaka bamukutte mu bwenzi n’akawala

Ko1 703x422

OMUSUUBUZI w’omu Ndeeba agguddwaako gwa kujjula bitannaggya bwe bamukutte lubona ng’asinda omukwano mu mmotoka n’omuwala atanneetuuka.

Haji Sulaiman Muyingo 55, ow’omu Wasswa Zooni e Makindye nga musuubuzi wa pikipiki ku Masai Traders mu Ndeeba ye yakwatiddwa poliisi y’e Katwe mu kiro ekyakeesezza Olwokusatu ku ssaawa 4:00. Baamusanze Makindye okuliraana essomero lya Molly and Paul ng’asinda omukwano ku mabbali g’oluguudo.

Muyingo yakwatiddwa mu mmotoka ekika kya Premio nnamba UBB191M mwe yabadde yeggalidde n’omuwala.Abaserikale baategeezezza nti bano olwabalabye, Muyingo n’asimbula mmotoka abulewo kyokka olwawulidde ng’omu alagira munne okumukuba essasi, n’ayimirira.

Baamusanze empale agisumuludde zzipu nga n’omuwala akateeteeyi kamuli mu bisambi. Muyingo yeewozezzaako ku poliisi nti alina obutakkaanya ne mukyala we ng’ekikolwa ky’obwenzi yakikoze kwetaasa, n’asaba ekisonyiwo. Yagambye nti baasoose kukkaanya era omuwala asussa emyaka 18.

Omuwala (amannya gasirikiddwa) yagambye nti ye yabadde ayagala 50,000/- kyokka Haji n’amutegeeza nti agenda kumuwa 15,000/- nga mu kukaayana poliisi we yabasangidde. Akulira ebikwekweto ku poliisi y’e Katwe, Timothy Byaruhanga yagambye nti Haji Muyingo baamugguddeko

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omwala2webuse 220x290

Ab'e Kansanga beeraliikirivu olw'omwala...

Abatuuze e Kansanga mu Makindye beeraliikirivu olw'omwala ogwasalamu ekkubo gwe bagamba nti gwandigwaamu abaana...

Babaka1 220x290

Sipiika tuyambe naffe baagala kututta...

ABABAKA ba Palamenti musanvu baddukidde ewa Sipiika nga balaajana nti waliwo ababalondoola abaagala okubatta nga...

Kasasiro11webuse 220x290

Ab’obuyinza batadde amateeka amakakali...

Kasasiro mu kibuga Mukono yeeraliikirizza abakulembeze n'abatuuze ne basaba Gavumenti ebayambe

Besigye1 220x290

Poliisi e Jinja ezzeemu okulemesa...

POLIISI e Jinja ezzeemu okukwata eyaliko pulezidenti w’ekibiina kya FD, Dr. Kizza Besigye n’emuggalira ku poliisi...

Abapangisa aba boda ne babatta...

Omu bamutuze omulambo ne bagwokya mu maaso