TOP
  • Home
  • Agawano
  • Lwaki poliisi ezibira gwe tulowooza okusaddaaka omwana! - Batuuze

Lwaki poliisi ezibira gwe tulowooza okusaddaaka omwana! - Batuuze

By Musasi wa Bukedde

Added 9th December 2017

ABATUUZE b’e Masaka batabukidde poliisi nga bagirumiriza okuzibira omugagga gwe bagamba nti alina ky’amanyi ku kusaddaakibwa kw’omwana Passy Mirembe.

Pambi 703x422

Passy Mirembe eyasaddaakibwa

Basabye Pulezidenti Museveni n’omuduumizi wa poliisi Gen. Kale Kayihura okuyingira mu musango gw’okusaddaaka omwana ow’omu muluka gw’e Katwadde mu ggombolola y’e Mukungwe e Masaka. Omwana Joseph Kasirye eyasaddaakikwa yali ava mu ggombolola y’emu.

Omugagga gwe balumiriza ye Moses Makumbi gwe bagamba nti yawa poliisi ssente emuggye mu musango gw’okusaddaaka Mirembe.

Omwogezi wa poliisi mu Greater Masaka, SP Lameck Kigozi eyakiikiridde bakama be mu lukiiko yasanze akaseera akazibu okumatiza ku kunoonyereza kwa poliisi we kutuuse oluvannyuma lw’okubategeeza nga Makumbi bwe batamukwatangako.

“Makumbi yaddukira gye tuli okutaasa obulamu bwe n’okufuna obujjanjabi olw’obulumbaganyi obwamutuusibwako era ne tumuyamba, naye si musibe”, Kigozi bwe yategeezezza olukiiko.

Abatuuze kwe kumubuuza ensonga eyagaana Makumbi okukwatibwa ne bakwatta ab’ekinywi kye so nga ne mu musango gw’omwana Kasirye erinnya lya Makumbi lyalabikiramu.

Abatuuze bagamba nti Makumbi yaliko omusawo wa Kajubi ne Umar Kateregga yali musekuzi wa ddagala owa Makumbi.

Erinnya lye lyakomyewo mu kusaddaakibwa kw’omwana Mirembe kyokka poliisi ne temukwata. Olukiiko lwatudde Njumaga, abatuuze kye baawakanyizza nga bagamba nti ssentebe eyalukubirizza Peregino Bikaanyuulo muganda wa Makumbi.

Obupapula obwalagigiddwa abantu okuwandiika ku bikwatta ku ttemu bagamba nti baabuzaabuziddwa kuba muwala wa Makumbi ye yabadde abukuhhaanya.

Omumyuka wa RDC e Masaka, Joseph Ssekasamba ye yalagidde abatuuze okuwandiika amannya g’abo be bateebereza okwenyigira mu bikolwa by’obumenyi bw’amateeka n’okutta abantu naye amannya bwe gaasomeddwa erya Makumbi lyalabikiddemu omulundi gumu ekyatabudde abatuuze.

Ssentebe wa LCIII e Mukungwe, Ssaalongo Kawuma yategeezezza nti n’okutuusa kati akyalemeddwa okumanya omuntu omutuufu eyasaddaase Mirembe n’asaba abatuuze beeveemu baatule amannya g’abeenyigira mu bikolobero.

Kigozi yategeezezza nga poliisi bwetakuhhaanyiza bujulizi ku mwenge wabula babuggya ku bantu ababatuukiridde nga tebajja kuwulira lugambo nti baalya enguzi ne bawalirizibwa okukwata Makumbi nga tebalina bujulizi.

N’agamba nti Makumbi tali omu kw’abo. “Temutya olw’ebitwogerwako nga poliisi bw’etasirikira byama. Tulina etteeka ekakkali ku ofiisa ayasa ebyama noolwekyo mutuwe amawulire awatali kutya,”Kigozi bwe yabagumizza.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kib11 220x290

Ba Kansala ku district e Kiboga...

Ba Kansala ku district e Kiboga bakubye ebituli mu budget ya District

Capture 220x290

Emitimbagano gya Vision Group gyakuvaako...

Emitimbagano gya Vision Group okuli ogwa bukedde.co.ug ne newvision.co.ug gyakuggalawo ku wiikendi eno okutandika...

Br3 220x290

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya...

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya abaali abakozi be zisajjuse

Kit1 220x290

Engeri akasaawe k'e Mulago gye...

Engeri akasaawe k'e Mulago gye kaalera Jimmy Kirunda

Jit1 220x290

Afiiridde mu kibanda kya firimu...

Afiiridde mu kibanda kya firimu e Mukono