TOP

Asobezza ku bbebi n’amusaddaaka

By Paddy Bukenya

Added 9th December 2017

Paul Ssemanda omutuuze w’e Kyamuwanga mu Ggombolola y’e Maddu mu Gomba yabazizza Harriet Nandawula ng’agenze ku dduuka n’abba omwana we n’amusobyako oluvannyuma n’amusala obulago n’alembeka omusaayi.

Paulo 703x422

Ssemanda nga gamumyuse

KU Ntandikwa ya wiiki eno, abatemu baayingidde mu maka g’omutuuze omu Kaija e Kulambiro mu Kampala ne basiba hawusigaalo ne bayingira mu kisenge ne batuga bbebi wa myezi 11 omulambo ne baguleka awo, ate omusajja omulala abbye bbebi wa myezi munaana mu buliri nnyina gye yabadde amuzazise n’amusobyako oluvannyuma n’amusaddaaka n’alembeka omusaayi n’agutwala.

Paul Ssemanda omutuuze w’e Kyamuwanga mu Ggombolola y’e Maddu mu Gomba yabazizza Harriet Nandawula ng’agenze ku dduuka n’abba omwana we n’amusobyako oluvannyuma n’amusala obulago n’alembeka omusaayi.

Ssemanda abadde yava Bukomansimbi nga yeefuula eyajja okupakasa.

Olwabbye omwana mu buliri n’amutwala mu nsiko gye yamusalidde obulago kyokka agenda okwekebera ng’essimu ye agyerabidde ewa Nandawula olwo naddayo okuginona.

Yasanze bagiggyeewo dda ne bagitwala ewa ssentebe w’ekyalo Mikayiri Byakatonda era olwamulabye ng’agezaako okuyingira mu nnyumba n’adduka wabula abatuuze ne bamutaayiza ne bamukwata.

Ssemanda nga baakamukwata yabyegaanyi wabula essimu ye n’emuloopa nga waliwo abamukubira nga bamugamba nti, “Watugambye mu ssaawa bbiri ojja kuba ebintu obireese naye tukulinda tetukulaba.”

Kino kyasaanudde abatuuze ne batandika okukuba Ssemanda emiggo n’ensambaggere wabula poliisi y’e Maddu n’emutaasa ne bamuggalira. Wano abatuuze baakoze omuyiggo gw’omwana kyokka n’ababula.

Poliisi bwe yayongedde okumukunya, Ssemanda kwe kunnyonnyola omwana gye yamutadde era n’abatwalayo ne basanga nga yamusaze obulago n’okumufumita ebiso omulambo n’agusuula mu kiswa ekifulufu.

Yasoose kutegeeza poliisi nti waliwo eyamutuma omutwe gw’omwana omuwala kyokka oluvannyuma n’abyegaana ng’agamba nti waliwo ekizimu ekyamulinnye n’atta omwana.

Akulira okunoonyereza ku buzzi bw’emisango mu Gomba, Erias Bahiruka yagambye nti omukwate teyeegaanyi musango era bagenda kumuggulako musango gwa butemu kyokka n’eyamutuma anoonyerezebwe.

SSEMANDA YAPANGISA EMIZIGO ESATU E MADDU

Ssemanda abadde yaakamala emyezi mukaaga gyokka ng’asenze mu kabuga k’e Maddu.

Yasooka kupangisa emizigo egy’enjawulo esatu ekyataataaganyizza okunoonyereza kw’abatuuze nga gye bamusuubira si gye yatutte omwana.

Abatuuze bagamba nti omusajja ono yandiba nga yajja alina ekigendererwa ky’okusaddaaka omwana kuba abadde yeebuzaabuza nga kizibu okumanya awatuufu w’asula.

Bateebereza nti yandiba nga yamusaddaakidde mu muzigo ogumu gye yasoose okumukweka n’alembeka omusaayi oluvannyuma n’asuula omulambo mu kiswa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kab2 220x290

Nnamwandu w'abaana ababiri ali...

Nnamwandu w'abaana ababiri ali mu kattu e Lwengo

Lab2 220x290

Abadde mu ADF aloj ja obukambwe...

Abadde mu ADF aloj ja obukambwe obuliyo

Hot2 220x290

Aba LDU balaze okusoomoozebwa kwe...

Aba LDU balaze okusoomoozebwa kwe bafuna

Buk2 220x290

Ab’e Lugazi bajaganya lwa buwumbi...

Ab’e Lugazi bajaganya lwa buwumbi 40 ez’okwekulaakulanya

Jip2 220x290

Embeera y’enguudo e Mukono yeeraliikiriza...

Embeera y’enguudo e Mukono yeeraliikiriza