TOP

Buganda Land Board egabye ebyapa 154

By Dickson Kulumba

Added 9th December 2017

Ssaabagabo mu Palamenti, Emmanuel Ssempala Kigozi akunze Bannayuganda okuwakanya etteeka ly’ettaka kubanga ligendereddwaamu okutondawo omuntu omu nga y’avunaanyizibwa ku ttaka lyonna ekigenda okubaleka mu bulabe.

Soma 703x422

Ssempala Kigozi ng’abuuza ku mwami wa Kabaka atwala essaza ly’e Busiro, Charles Kiberu Kisiriza Ssebwana (ku kkono). Addiridde Ssempala ye Kyewalabye Male ate owookubiri okuva ku kkono ye Kaggo Patrick Luwagga Mugumbule nga bali ku mukolo BLB kwe yakwasirizza abantu ebyapa.

Bino yabyogeredde ku mukolo ekitongole kya Buganda Land Board kwe kyakwasirizza ebyapa 154 eri bannannyinni byo mu nkola ya ‘KYAPA MU NGALO’ ogwabadde ku ttabi ly’ekitongole kino ku kizimbe kya Muganzirwazza e Katwe ku Lwokuna.

“Ettaka lya Buganda lye lisinga ebbeeyi n’obulungi mu Uganda ky’ova olaba nga buli omu ayaayaana okubeera wano. Enkola y’ebyapa yatandikira wano mu Buganda era nze nnina ekyapa naye nga kyava ku kya jjajjange ku ttaka ly’emyaka gya 1800 noolwekyo ate tujja tutya okuvumirira enkola y’ebyapa mu budde buno?” Ssempala Kigozi bwe yabuuzizza.

Yayongedde n’ategeeza nti, “ Etteeka ly’ettaka eririwo limala bulungi okutereeza ensonga z’ettaka wabula ng’obuzibu obuliwo by’ebitongole ebikola ku nsonga z’ettaka okulemererwa emirimu gyabyo ate omusango ne guteekebwa ku ffe abantu.

Noolwekyo mbasaba mugambe ababaka bammwe bave ku nsonga y’ettaka,” Ssempala eyaliko omwami wa Kabaka atwala eggombolola ya Makindye Ssaabagabo bwe yategeezezza.

Mu baaweereddwa ebyapa kuliko Balukia Makumbi Ssonko nga kye yafunye kya 60x100 ku luguudo Jjuuko mu Nsambya West Zooni. Ekibanja kino yakifuna mu 1975 ku 5,000/-.

Ssonko yategeezezza Bukedde nti bwabaddenga agenda mu bbanka nga basobola okumuwola obukadde butaano naye oluvannyuma lw’okufuna ekyapa aba Centenary Bank baamugambye nti basobola okumuwola ezisingawo.

Abalala abaaweereddwa ebyapa kuliko; Arch. Joel Kateregga, Henry Mutyaba, Emmanuel Musoke, Charles Njuki, Achilleo Kizza Kiwanuka Magembe, John- Bosco Oryem saako Rakesh Patel n’abalala.

David Kyewalabye Male nga y’akulira Buganda Land Board yasabye disitulikiti ez’enjawulo okunyweza enkola y’obukiiko obulondoola eby’okuteekateeka ebibuga n’obukola ku nsonga z’ettaka okulaba ng’abantu bakolera mu mateeka agafuga ebintu bino byombi.

Wiiki ewedde BLB yagaba ebyapa 55 eri abantu b’e Nansana ate ku Lwokusatu December 6, 2017 n’ekwasa ebyapa 12 eri abantu b’e

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kavuma1jpgweb 220x290

Omukazi yanfera omukwano

Nze Abdurrahman Musingunzi 25, mbeera Kalerwe. Twasisinkana n’omukazi mu ttendekero erimu eryobusomesa e Ibanda...

Mwana2jpgweb 220x290

Abazadde basobeddwa olw'omwana...

Abazadde basobeddwa olw'omwana waabwe okuyubuka olususu buli olukya naye nga tebamanyi kimuluma. Bagamba nti omwana...

Kadaga 220x290

Kadaga alabudde abakozesa obwana...

Sipiika wa Palamenti, Rebecca Kadaga asabye gavumenti okussaawo amateeka amakakali agakangavvula abakozesa abaana...

Ndagamuntuyomugenzi2 220x290

Afiiridde mu mulyango nga bamutwala...

Abatuuze basabye bannannyini mayumba okukomya okupangisa abantu amayumba nga tebafunye bibakwatako

Sat2 220x290

Ttiimu 40 zikakasizza okwetaba...

Ttiimu 40 zikakasizza okwetaba mu mpaka za Begumisa cup