TOP
  • Home
  • Ageggwanga
  • Entegeka z'okuggya mmotoka ku Luwum ne Namirembe ziwedde

Entegeka z'okuggya mmotoka ku Luwum ne Namirembe ziwedde

By Hannington Nkalubo

Added 9th December 2017

ABASUUBUZI ku nguudo olwa Namirembe ne Kisenyi bawandiikidde minisita wa Kampala, Beti Kamya ku pulojekiti y’okukyusa enkozesa y’enguudo mu kitundu kyabwe ng'emmotoka zigenda kugobwako ne bagamba nti basooke balowooze ku mirimu gyabwe.

Laba 703x422

Amasang'anzira ga Mini Price awagenda okussibwa ebitaala nga gakutte. Waggulu mu kifaananyi gw'emulyango oguyingiza takisi n'okuzifulumya ku luguudo lwa Luwum. Mmotoka zonna KCCA egenda kuziggyawo.

Beegattiddwaako abakolera mu Kikuubo nabo abategeezezza nti, mmotoka eziyingiza ebyamaguzi zibadde zikozesa luguudo lwa Namirembe kati bagenda kukaluubirirwa okubiyingiza mu Kikuubo.

Ebbaluwa ziri biri ng'emu yawandiikiddwa basuubuzi abeegattira mu kibiina kya Namirembe Road Bisiness Community ate endala ya kibiina ky'abavubuka ekiyitibwa Mengo Youth Development Association. Zonna zisaba enteekateeka y'okukyusa enkozesa y'oluguudo lwa Namirembe Road ne Luwum Street ziyimirizibwe kubanga okuzirekera ab'obugaali n'ebigere kigenda kusannyalaza emirimu mu Kampala.

Ismail Ssentongo, Prossy Namukasa ne Perez Muheki be baatadde omukono ku bbaluwa y'ekibiina kya Mengo Youth Development Association ate Bashir Ssali ne Saad Lukwago ne bateeka ku ya Namirembe Road Business Community.

Abamu ku basuubuzi okuli Mohamed Lutaaya ne Musa Lule baategeezezza nti KCCA singa ekola amakubo agasobola okubatuusa mu maduuka gaabwe tewaba kizibu.

Aba takisi mu ppaaka ya Namirembe Road Takisi Park bagamba nti KCCA esaana ekole n’oluguudo oluyita wakati w'ebizimbe ne ppaaka yaabwe nga tebannalowooza ku kugoba mmotoka ku luguudo lwa Namirembe ne Luwum.

Omwogezi w’olukiiko olufuga abasuubuzi mu Kikuubo Samuel Muyomba yagambye nti enteekateeka y’okugoba mmotoka ku luguudo lwa Namirembe ne Luwum, KCCA tennaba kuzibanjulira.

Entegeka ya KCCA eno etuumiddwa Non Motorized Transport System esuubirwa okutandika mu mwezi guno.

KCCA egenda kuyiikuula enguudo bbiri (Namirembe ne Luwum) nga bagenda kukyusa waya z’amasannyalaze n’okusengula ebikondo, by'essimu, okugaziya emyala n’okukyusa ebitaala by’oku nguudo.

Pulaani eno yayisibwa mu September omwaka guno ne kkampuni ya Sterling Civil Engineering Uganda Ltd egenda okukola omulimu ne bagirangirira era ensimbi obuwumbi 23 ze zigenda okukozesebwa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kab2 220x290

Leero mu mumboozi y'omukenkufu...

Leero mu mumboozi y'omukenkufu tukulaze engeri gy'oyinza okukozesaamu butto w'empirinvuma okulwanyisa obulumi ng'oli...

Kuba1 220x290

Abalamuzi mu nsi za Afrika 5 basisinkanye...

HENRY Peter Adonyo akulira ettendekero ly’abalamuzi akubirizza abalamuzi ba Kkooti Enkulu okwenyigiranga mu misomo...

Haki 220x290

Kamoga atongozza hakki eyookuna...

HAJJI Muhammadi Kamoga naye nno tasaaga. Ayingizzaawo hakki eyookuna Zanei Birungi.

Tuula 220x290

Spider Roxy atandise okukokoolima?...

ABANTU abaalabye omuyimbi Spider Roxy n’ekyana nga beekuba obuwuna n’obwama baasigadde beebuuza oba naye yatandise...

Tuma 220x290

Omuwala yankyawa lwa bwavu

NZE Wilson Musoga, nzaalibwa mu disitulikiti y’e Mayuge. Mu 2018, nnasalawo okufuna omwagalwa era amaaso gansuula...