TOP
  • Home
  • Agawano
  • Salaamu Musumba alangidde ababaka ba Palamenti obufere

Salaamu Musumba alangidde ababaka ba Palamenti obufere

By Muwanga Kakooza

Added 11th December 2017

OMUMYUKA wa Ssabawandiisi wa FDC Salaamu Musumba alangidde ababaka ba Palamenti ‘’obufere’’ n’ategeeza ng’ekibiina kino bwe kigenda okukolawo akatiisa singa ensonga y’okukyusa Konsityusoni okuggyamu akawaayiro ku kkomo ku myaka gya Pulezidenti enaaletebwa mu ddiiro.

Fdc1 703x422

Omumyuka wa ssentebe wa FDC avunaanyizibwa ku bugwanjuba bwa Uganda Salaamu Musumba (ddyo) ng’alina byannyonnyola bannamawulire e Najjanankumbo. Ku kkono ye mumyuka wa Ssabawandiisi w’ekibiina Harold Kaija.

Abadde ayogera mu lukung’ana lwa bannamawulire e Najjanakumbi n’alangira ababaka ba palamenti obufere. ‘’ Palamenti ya Zimbabwe esingira wala eya Uganda.

Eyaffe ya kifere. (Ababaka) balowooza waliwo  kaki ke balya. Guno (ogw’okukyusa Konsityusoni) gwe munyago ogusinze okubakolera. Olaba baagala n’okwongera ekisanja kive ku myaka ettaano kidde ku musanvu.Ani yakibatumye.Ako akakiiko kafere.’’ bwe yagambye.

Musumba yabadde n’omumyuka wa Ssabawandiisi w’ekibiina Harold Kaija wamu n’omwogezi w’olukiiko lw’ekibiina olw’abakyala Sarah Eperu.

Agambye nti  FDC ne Bannayuganda baagala Konsitityusoni etunuulirwe bukolokolo bw’eba yetaaga okukyusibwamu sso ssi kukyusa kawayiro kamu kokka nga bazinira ku ntoli z’omuntu omu.

Annyonnyodde nti FDC egenda kubaako ky’ekolawo okulaba ng’egugubada okulwanyisa embeera eno (ey’okuggyawo akawayiro) kyokka n’agaana okulambulula ng’agamba nti kye banakola kijja kulabibwa buli omu.

Salam ategeezezza nti Pulezidenti omuggya Patrick Amuriat waakugenda mu maaso n’abakulembeze b’ekibiina abalala b’asanze mu ntebe nga baalondebwa olukung’ana lwa bonna ng’olwamulonda (Amuriat) terunatuula.

Kyokka yagambye nti FDC erowooza ku ky’okukyusa omumyuka w’akulira akakiiko ka palamenti akalondoola enzirukanya y’ebitongole bya gavumenti  (COSASE) Anita Amongin kuba alabika ng’eyava ku mulamwa gw’ekibiina kino nga kati yekolera bibye.       

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sob1 220x290

Mu mboozi yaffe n'omukenkufu tukuleetedde...

Mu mboozi yaffe n'omukenkufu tukuleetedde engeri gy'oyinza okukozesa katunguluccumu mu kwejjanjaba ate nga bw'omunogamu...

Wange1703422 220x290

BUKEDDE W’OLWOKUNA ALIMU EBIKULU...

Sobi eyeewaana okutta abantu ayogeza maanyi. ISO enyigirizza Poliisi n’emuyimbula.

Manage 220x290

Gavumenti eyimirizza abaalondeddwa...

PULEZIDENTI Yoweri Museveni ayimirizza okutendeka ebibinja by'abavubuka abakuuma ebyalo n'okusolooza 1,000/- okuva...

Ds2ciwsw4aaccf1 220x290

UNRA eyiiseemu omusimbi mu bajeti...

SSENTE ez’ettundutundu eryokusatu erya bajeti y’eggwanga ey’omwaka 2017/18 zifulumye ng’ekitongole kya UNRA eky’ebyenguudo...

Jamwa1 220x290

Chandi Jamwa ajulidde mu kkooti...

EYALI akulira NSSF, David Chandi Jamwa, eyazzeemu okusibwa emyaka 12 olw’okufiiriza gavumeti ssente, ajulidde ng'awakkanya...