TOP
  • Home
  • Buganda
  • Abeddira akasimba basonda za kuzimba 'Akasimba Plaza'

Abeddira akasimba basonda za kuzimba 'Akasimba Plaza'

By Musasi wa Bukedde

Added 11th December 2017

Yategeezezza nti ekika kirina enteekateeka y’okuzimba ekizimbe gaggadde ekituumiddwa 'Akasimba Plaza' okukolerwa emirimo gy’obusuubuzi, okuzaawo embuga z’ekika n'enteekateeka endala.

Kasimba 703x422

Omukulu w’ekika Kabazzi David Nampuuma Miti ng'ayogera eri bazzukulu be. ekif: LAWRENCE KIZITO

Bya Lawrence Kizito

OMUKULU w’ekika ky’Akasimba, David Kabazzi Nampuuma Miti asabye bazzukulu be okwenyigira mu nteekateeka zonna ez’enkulaakulana ezitandikibwa mu kika basobole okutuuka ku ntikko.

Kabazzi okwogera bino yasinzidde ku mukolo ogw’okumanyagana ogwategekeddwa ku Country Resort e Kyengera nga 10th/12/2017.

Yategeezezza nti ekika kirina enteekateeka y’okuzimba ekizimbe gaggadde okukolerwa emirimo gy’obusuubuzi, okuzaawo embuga z’ekika n'enteekateeka endala.

Nampuuma yagambye nti enteekateeka zino zonna zikwata ku buli muzzukulu kubanga tewali agenda kubakwatirako era ekika kye kigenda okuganyulwa mu pulojekiti zonna ezikolebwa.

Yalagidde abazzukulu okujjumbiranga emikolo gy’okumanyagana n’okuleetanga abaana baabwe basobole okumanya ebyafaayo by’ekika kyabwe.

Waalondeddwawo akakiiko akaatumiddwa 'Akasimba Twezimbe' nga kakulemberwa Christine Birabwa Nsubuga nga kano ke kagenda okunoonya ensimbi z’okuzimba ‘Akasimba Plaza’, n’okukulemberamu emirimo egy’enkulakulana emirala.

Waasondeddwaawo 1,425,000/- mu mpeke n’endala 13,490,000/- ezeetemeddwa abazzukulu ng’ettoffaali ku ntandikwa ya pulojekiti eno.

Omukulu w’ekika ky’Engo, Muteesaasira Keeya Tendo Namuyimba yavumiridde eky’abantu ennaku zino naddala abavubuka okweggyako amannya g’ekika ne batuuka n’okufumbiriganwa nga tebamanyi nti baaluganda.

Yakubirizza abazzukulu okukola ennyo basobole okwegobako obwavu mu maka gaabwe n'okuyamba ekika.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Jamwa1 220x290

Chandi Jamwa ajulidde mu kkooti...

EYALI akulira NSSF, David Chandi Jamwa, eyazzeemu okusibwa emyaka 12 olw’okufiiriza gavumeti ssente, ajulidde ng'awakkanya...

Dttio7w4aajczb 220x290

Desabre azudde abazannyi abaamukubya...

WADDE nga mu kusooka yagaanyi okunokolayo omuzannyi ssekinnoomu gw’anenya okuviirako ttiimu okuvuya mu mupiira...

Alexgitta2 220x290

Omutendesi Gitta bamukalize emipiira...

AKAKIIKO akwasisa empisa mu FUFA kakalize omutendesi Alex Gitta ku ttiimu ya Masavu FC okumala emipiira ena nga...

Aaaabig703422 220x290

Tito Okello ne Nsibambi bagobeddwa...

OMUTENDESI wa kiraabu ya KCCA FC Mike Mutebi acwanye n’agoba abasambi babiri ababadde batandika ku ttiimu esooka...

Dtudjxexkaa9kqw 220x290

Abatikkiddwa mwewale enguzi - Polof....

YUNIVASITE y’e Makerere eggulo yatandise okutikkira abayizi, omumyuka wa Cansala Polof. Barnabas Nawangwe n’akuutira...