TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Poliisi yeezoobye n'aba DP ng'ebatangira okugenda ku Palamenti

Poliisi yeezoobye n'aba DP ng'ebatangira okugenda ku Palamenti

By Hannington Nkalubo

Added 12th December 2017

ABAKULEMBEZE ba DP okuli Pulezidenti Nobert Mao ne ssentebe w’ekibiina Mayambala Kiwanuka bakwatiddwa n’abavubuka nga batambula okugenda ku Palamenti okuwulira ababaka bwe bateesa ku kugya ekkomo ku myaka gya Pulezidenti.

Tola1 703x422

Poliisi ng’ekwata Mao

Waabaddewo okulwana nga poliisi ebataayiza era abaserikale babafuuyidde kaamulali abamu amaziga ne gabayitamu.

Okulwana kwabadde ku Kampala Road ku ssaawa 8:00 ez’olweggulo ku Lwokubiri.

Pulezidenti Mao ne Mayambala Kiwanuka baasoose kutuuza lukiiko lwa bannamawulire ku City House ku makya ne bavumirira ababaka abaagala okugya ekkomo ku myaka gya Pulezidenti.

Mao yalaze empagi musanvu ze baagala zinywezebwe mu Ssemateeka nga tezikwatibwaako.

“Palamenti eteekwa okuzaawo ekkomo ku bisanja by’abakulembeze.

Bateekwa okunyweza ekkomo ku myaka gya Pulezidenti gisigale ku 75, Palamenti eteekwa okukuuma ekitibwa kyayo nga yeetengeredde n’ekitibwa kyessiga eddamuzi nga teriyingirirwa.

Gavumenti eteekwa okukkiriza okugabana obuyinza n’abantu n’okulekera abantu eddembe lyaabwe eryokwogera n’okwewala okukwata ku ttaka ly’abantu” Mao bwe yategeezezza.

Yatongozza wiiki y’okukungubaga eyatandise ku Mmande ng’erimu okwesiba obuwero obumyuufu ku mutwe, okugaba bendera za DP, okusomesa abantu ebyobufuzi n’okukuba enkiiko mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo.

Mao olwamalirizza okulangirira bino n’ategeeza nti bagenda mu Palamenti kuwuliriza babaka bwe bateesa.

Abaserikale abaabadde mu ngoye za bulijjo ne yunifomu baabasanze ku Kampala Road nga tebaabakkiriza kunyonnyola ne bamulagira alinnye kabanga nga bwe baaganyi ne babakwata ne babatwala ku poliisi ya CPS.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sema 220x290

Mesach ekivvulu kimuwuuba

OMUYIMBI Mesach Ssemakula amanyiddwa nga Golden Papa kati gwe baawadde n’ekitiibwa kya ‘‘Sir’’ bw’oba omunoonya...

Funa 220x290

Square Milez ne Deborah Kandi temwekola...

ABAYIMBI Deborah Nakandi eyeeyita Deborah Kandi ne Kisaakye Micheal Joseph amanyiddwa nga Square Milez ebintu bye...

Baba 220x290

Swengere ne Maama Kalibbala bali...

HUSSEIN Ibanda amanyiddwa nga Swengere ne munnakatemba munne Maama Kalibbala bali luno.

Lap2 220x290

Owoomuluka awerennemba na gwa ttaka...

Owoomuluka awerennemba na gwa ttaka

Siralexferguson1132188 220x290

Aba ManU bampisaamu amaaso - Sir...

EYALI omutendesi wa ManU, Sir Alex Ferguson ayogedde ku mbeera eyali ttiimu ye gy'erimu n'agamba nti ekwasa ennaku....