TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Alimbye mwannyina ali ku kyeyo nga bw'amugulidde ettaka ne yeezibika obukadde 55!

Alimbye mwannyina ali ku kyeyo nga bw'amugulidde ettaka ne yeezibika obukadde 55!

By Eria Luyimbazi

Added 13th December 2017

POLIISI mu Kampala ekutte omukazi eyalimbye muganda we ali ku kyeyo nga bw'amugulidde ettaka ne yeezibika obukadde 55.

Kiryoowa1 703x422

Owoyesingire ng'aliko by'abuuza Halima Kiryoowa eyalimbye mwannyina nga bw'amugulidde ettaka ne yeezibika ssente

Halima Kiryoowa abeera e Wobulenzi   ye yakwatiddwa  oluvannyuma lw'okwezibika ssente obukadde 55  mwannyina Asfiraf Kiryoowa ze yamuweereza okumugulira ettaka.

Omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emirirwano, Luke Owoyesigire yagambye  nti Kiryoowa akolera mu kibuga Cairo yamusindikira mwannyina ssente amugulize ettaka wabula ssente n'azibulankanya n'abategeza nga bw'abagulidde ettaka e Busiika kyokka bazuula nga teribangayo.

“Bannaffe abali ku kyeyo bali ku buzibu bw'otolobanga olw’ab'enganda zaabwe be baleka kuno ne babakwasa n'obuvunanyizibwa okubagulira ebintu kyokka ne badda mu kulya ssente zaabwe,” Owoyesigire bwe yategeezezza.

Yagambye nti Kiryoowa okumugwamu kyaddiridde mulamu we Najjuuko ( mukazi wa Ashraf naye ali ku kyeyo) okukomawo okulaba ettaka lye baabagulira n'asanga nga teririiwo n'agenderawo ku poliisi n'aloopa era amangu n'embiro Halimah n'akwatibwa n'aggulibwako omusango gw'obukumpanya oguli ku fayiro nnamba SD 27/07/11/2017.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Annotation20190718192802 220x290

Okwogera kwa Pulezidenti Museveni...

Okwogera kwa Pulezidenti Musevebni eri eggwanga. Tuli mu maka g'Obwapulezidenti e Nakasero

Massagebeingdonewebuse 220x290

By'olina okutunuulira nga tonnakola...

Nakola masaagi ne ntemwako okugulu era ntambulira mu kagaali - Dr. Karuhanga

Omukubayizingalikobyanyonyolawebuse 220x290

Abawala abazaddeko mubazze mu masomero...

Abawala abazaddeko okudda mu masomero kyakuyigiriza abalala obutakola nsobi n'okubudaabuda abafunye obuzibu bwe...

Teekawo1 220x290

Akakiiko ka bannamateeka kasazizzaamu...

OLUKIIKO olufuzi olwa bannamateeka ba Uganda Law Society olukwasisa empisa lusazizzaamu ekibonerezo ky'emyaka ebiri...

Club 220x290

Vipers bagitutte mu kkooti lwa...

KIRAABU ya Vipers bagitutte mu kkooti lwa kukozesa akabonero kaayo (logo) nga tebasasudde yakakola. Era eyabawawaabidde...