TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Omubaka Kiyingi addusiddwa mu ddwaaliro e Kenya nga biwalattaka

Omubaka Kiyingi addusiddwa mu ddwaaliro e Kenya nga biwalattaka

By Musasi wa Bukedde

Added 13th December 2017

Omubaka wa Bukomansimbi South, Deogratius Kiyingi (DP), aweereddwa ekitanda mu ddwaaliro lya Agha Khan e Nairobi mu Kenya ng’ali mu mbeera mbi.

Mrdeogratiaskiyingimpbukomasimbisouthinterpretingthebilltohiselectoratesonfridaymartinsessekweyama415260 703x422

Omubaka Deogratius Kiyingi

Omubaka Muhammad Nsereko (Kampala Central) yategeezezza nga bwe yafunye amawulire ga Kiyingi nga tali mu mbeera nnungi era nga yatwaliddwa mu ddwaaliro lya Aga Khan okufuna obujjanjabi obusingawo.

Ababaka abawerako nabo baategeezezza nga bwe baafunye obubaka ku WhatsApp nga babategeeza nga Kiyingi bwe yatwaliddwa e Kenya ajjanjabibwe. Kyokka obwedda bonna tebakakasa bulwadde bumuluma.

Kyokka waliwo abaategeezezza nti aludde ng’atawaanyizibwa mu lubuto era nga kiteeberezebwa nti obulwadde obumuluma bwekuusa ku nsigo.

Florence Nakiwala Kiyingi, minisita w’abavubuka n’ensonga z’abaana era nga ye muk’omubaka Kiyingi, teyasobose kufunika kubaako ky’atangaaza ku bulwadde obuluma bba.

Eddwaaliro lya Aga Khan mwe bajjanjabira ne minisita w’ebyobulamu ebisookerwako, Dr. Joyce Moriku Kaducu eyatwalibwayo oluvannyuma lw’okusooka okutwalibwa mu ddwaaliro lya IHK Namuwongo nga takyasobola kussa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Br3 220x290

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya...

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya abaali abakozi be zisajjuse

Kit1 220x290

Engeri akasaawe k'e Mulago gye...

Engeri akasaawe k'e Mulago gye kaalera Jimmy Kirunda

Jit1 220x290

Afiiridde mu kibanda kya firimu...

Afiiridde mu kibanda kya firimu e Mukono

Bad1 220x290

King Michael akaayidde Balaam

King Michael akaayidde Balaam

Dot1 220x290

Ebyokutambula bino byetaagamu kasooda...

Ebyokutambula bino byetaagamu kasooda