TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Mu mboozi yaffe ey'omukenkufu Julius Nnyanzi leero tukuleetedde engeri gy'oyinza okugobamu ekiwalaata

Mu mboozi yaffe ey'omukenkufu Julius Nnyanzi leero tukuleetedde engeri gy'oyinza okugobamu ekiwalaata

By Musasi wa Bukedde

Added 13th December 2017

Mu mboozi yaffe ey'omukenkufu Julius Nnyanzi leero tukuleetedde engeri gy'oyinza okugobamu ekiwalaata

Nya1 703x422

Julius Nyanzi owa Prof Bioresearch

WIIKI ewedde nakulaze egimu ku migaso gy’ensogasoga, wabula gyo mingi era katwongereko. Mu mbeera y’okuyiiya ssente, ensogasoga osobola okugikolamu eddagala ly’engatto, eddagala lino liba ddungi kuba linnyiriza engatto ate ne zikuumibwa nga tezikosebwa musana. Abantu bamala ssente nga bagula eddagala eribayamba okukyusa langi z’enviiri naddala ennaku zino abafuna envi ate n’abo abalina ebiwalaata.

Wano osobola okukozesa ensogasoga n’okamulamu butto, wabula olina okuba ng’ozisiikidde ddala ne zibanga ezisiriira oluvannyuma n’olyoka ozikamulamu butto ono osobola okumugattamu akagiiko ka bbiya n’osiiga mu nviiri.

Butto aziyamba obutakutuka era Abalasita e Jamaica bazikozesa nnyo mu kukuza enviiri. Butto takoma ku nviiri zokka, wabula ku muntu alina enkyakya n’abawunya ebigere butto w’ensogasoga kasita omukozesa akuyamba obutabifuna. Kino Abajamaica be bakizuula nti buli lwe bakuza enviiri zifuna envi.

Bwe bazuula butto w’ensogasoga ne batandika okumukozesa. Osobola okumugatta ne bbiya oba amagi obyesiiga, tekola ddaayi, wabula aliikiriza enviiri envi ne zigenda. Omuntu nga tannaweza myaka 65 envi buba bulwadde era ensogasoga esobola okukuvumula.

Kyokka ku bakyala n’abaami abalina mugaba era ekuyamba, osiiga butto ku mugaba abule. Wabula ku muntu alwalalwala, osobola okunywa akagiiko kamu mu kikopo ky’amazzi ajja kukuyamba omubiri okuba nga gulwanyisa endwadde. Ku bantu abavuga mmotoka, ensogasoga butto waayo musiige ku lukoba lwa yingini ajja ku lukuuma nga lugumu.

Asobola n’okugumya enkoba ezisiba ebintu abalina eggaali ne pikipiki bye batera okukozesa. Ggwe alina ensawo ezirina eddiba erya ‘leza’, osobola okuteeka butto w’ensogasoga ku nsawo zino ajja kuzikuuma nga nnamu okumala ebbanga ddene kuba ne bw’eyakako omusana temala gafa. Ensogasoga esobola okuvaamu amafuta g’emmotoka.

Ggwe alina amanda, ssinga oteekamu ku nsogasoga ojja kukozesa amanda matono kubanga gaaka. Ate bano abagakola okuva mu kasasiro gajja kwaka. Omuntu alina akawoowo ng’oyagala okukeekuba kakusigaleko olunaku lulamba, sooka okuteeke mu woyiro w’ensogasoga n’oluvannyuma wesiige.

 nsigo zensogasoga etuuse okukamulwamu butto Ensigo z’ensogasoga etuuse okukamulwamu butto.

Abantu abataagala ku kaddiwa basobola okukozesa ensogasoga, butto akuuuma olususu nga terufuna mangu nkanyanya. Abantu abakola ebizigo basaanye okutabulamu butto w’ensogasoga, ku baana abalina ebiguuna n’okwetakula ajja kubayamba bulungi.

Ssinga okwata ejjuba n’olimaanya, ebyoya biddako mangu kuba zirya ensogasoga. Ssinga omaanya enkoko ebyoya ojja kulaba ebbanga ly’eba eneemala nga tebinnamera. Ago ge maanyi g’ensogasoga. Asangibwa ku Equatorial Mall dduuka nnamba 152 mu Kampala. Mufune ku 0702061652 / 0779519652.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kanta 220x290

‘Muntaase ku baana bange abanzibako...

OMUKADDE ow’emyaka 93 atabuse n’abaana be ng’abalumiriza okubeera mu kkobaane erimugoba ku ttaka lye balyeddize....

Bonnyjpgweb 220x290

Abadde ayanula engoye z'abatuuze...

Bonny Tamale omutuuze w'oku Kalerwe Kiggundu Zooni y'asimattuse okuttibwa abatuuze b'e Bwaise oluvannyuma lw’okumusanga...

Agende 220x290

Kkooti egobye egimu ku misango...

KKOOTI y’e Nakawa egobye omusango gw’obuyeekera ogwali gwaggulwa ku basajja 14 abagam- bibwa nti beenyigira mu...

Kola 220x290

Boofiisa ba poliisi Muhangi ne...

EYALI akulira ekitongole kya Flying Squad, Herbert Muhangi abadde amaze emyaka ebiri mu kkomera ng’avunaanibwa...

Na 220x290

‘Mukebere nnamba z’essimu okuzuula...

AKAKIIKO akavunaanyizibwa ku by’empuliziganya mu ggwanga aka Uganda Communication Commission (UCC) kalagidde abakozesa...