TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Gwebakutte ne muk'omusajja bamufumise ebyenda ne biyiika

Gwebakutte ne muk'omusajja bamufumise ebyenda ne biyiika

By Paddy Bukenya

Added 14th December 2017

Gwebakutte ne muk'omusajja bamufumise ebyenda ne biyiika

Lop1 703x422

POLIISI ekutte ssemaka afumise omusiguze gw'akutte ne mukaziwe ekiso n'amuyiwa ebyenda.

Akwatiddwa poliisi ye Innocent Mugisha myaka 37 omutuuze we Bugayi mu Mpigi town council nga bamulanga kukakkana ku Steven Mbayiruka gw'atebereza okumusigulira omukazi n'amufumita ekiso mu lubuto ebyenda ne biyiika.

Mugisha okufumita Mbayiruka kiddiridde okumukwata lubona nga yesanyusa ne mukaziwe Jesca Nagawa mu makage n'amufumita ekiso mu lubuto ebyenda
ne biyiika.

Mbayiruka yaddukidde ku poliisi ye Mpigi ng'akwatiridde ebyenda poliisi n'emuddusa mu ddwaliro okumutunga era ne banoonya Mugisha ne bamukwata ne bamuggalira.

Okusinziira ku Mbayiruka ategeezezza poliisi  yatutte Nagawa mu makage nga tamanyi nti muka musajja kyokka Mugisha n'abalumbayo n'amufumita ekiso kyokka olumwesimatuddeko n'adduka n'akakkana ne ku mbuzi ye ebadde mu lujja nayo n'agifumita neefa.

Bino Mugisha abyegaanye n'ategeeza nti Mbayine bwamulabye naggyayo effumu okumufimita wabula mu kulwanagana ne limufumita mu lubuto era nti
bwamwesimatuddeko nadduka olwo n'amukasukira effumu naalyewoma ne likwata embuziye ebadde okumbi n'olujja neefa.

Akulira poliisi ye Mpigi Tonald Mugarura ategeezeza nti Mugisha aguddwako omusango gwokugezaako okutta ku fayiro namba 1970/17 era wakutwalibwa mu kooti avunanibwe.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sky2 220x290

URA eggaddewo SkyLight Arcade abasuubuzi...

WAABADDEWO akassattiro mu kibuga abasuubuzi abakolera ku kizimbe kya Sky Light Arcade bwe baasanze ng'amaduuka...

Ssaavabazigu1 220x290

Abagambibwa okubba Abachina e Nkoowe...

ABAVUBUKA abagambibwa okubbisa eryanyi nga bakozesa emmundu basimbiddwa mu maaso g’omulamuzi wa kkooti Enkulu etuula...

Sooto2 220x290

Embeera ya Ppaaka Enkadde: Okw'enkuba...

Enkuba bw'etonnya Ppaaka enkadde fuula nga kiraalo kya nte!

Kubbiri6 220x290

Olutalo lwa Ssennyonga ne Kakande...

OMUSUMBA Jackson Ssennyonga aguze ekizimbe okumpi n'ekkanisa ya Nabbi Samuel Kakande ku bbiri e Mulago, embiranye...

Kabz 220x290

Kabushenga asiimye KCCA FC

"Kino kigenda kumpaliriza okulaba emipiira gya KCCA nga ntandiika n'ogwa CAF Confederations Cup.