TOP
  • Home
  • Ageggwanga
  • Kkooti ewadde Palamenti ebbeetu ku kukyusa ennyingo 102(b)

Kkooti ewadde Palamenti ebbeetu ku kukyusa ennyingo 102(b)

By Musasi wa Bukedde

Added 16th December 2017

KKOOTI ekkirizza Palamenti okugenda mu maaso n’enteekateeka z’okukubaganya ebirowoozo ku ky’okukyusa akatundu 102(b) akaggya ekkomo ku myaka gya Pulezidenti.

Bbago2 703x422

Ken Lukyamuzi, Asuman Basaalirwa, Johnnary Ssebuufu, Bwanika (asembye ku ddyo) nga bawuliriza looya Rwakafuuzi.

BYA ALICE NAMUTEBI

Omuyambi w’omuwandiisi wa Kkooti Enkulu Joy Kabagye ye yayisizza ekiragiro kino n'agamba nti Palamenti ya ddembe okuteesa ku mateeka n’okukola ennongoosereza kubanga bwe buvunaanyizibwa bwayo obulambikiddwa Ssemateeka.

Kabagye agambye nti kkooti ne Palamenti byetongodde era buli kimu kirina emirimu egyakirambikibwa nga kati kkooti okweyingiza mu mirimu gya Pamaenti kuba kugiggyako buvunaanyzibwa bwayo.

Bino Kabagye okubyogera abadde agoba okusaba kwa bannabyabufuzi abali ku ludda oluvuganya gavumenti okuli Abed Bwanika wa People’s evelopment Party, Ken Lukyamuzi owa Conservative Party ne Asuma Basalirwa owa Jeema ababadde basaba kkooti eyimirize Palamenti okuteesa ku bbago lino okutuusa ng'omusango gwabwe mwe basabira kkooti eragire akakiiko k’ebyokulonda okuteekawo 'koodi' abantu abaagala liferendamu gye balina okukozesa okulonda mu kifo ky'okukuhhaanga emikono gyabwe.

Ensala y’omulamuzi tesanyusizza Bwanika ne banne era nga bagambye nti bagenda kujulira.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lab2 220x290

Wali muyigiriza ow'ekisa

Wali muyigiriza ow'ekisa

Lip2 220x290

Okufa kwa Namirimu kwatufumise...

Okufa kwa Namirimu kwatufumise nga ffumu

Tip2 220x290

Bannange nze siri mulogo ebyawongo...

Bannange nze siri mulogo ebyawongo bye bintawaanya

Kid2 220x290

Ono muzeeyi omwenge aguyodde nga...

Ono muzeeyi omwenge aguyodde nga bijanjaalo

Got2 220x290

Abasuubuzi mu katale k’e Kitintale...

Abasuubuzi mu katale k’e Kitintale bali ku bunkenke