TOP

Agobye nnyazaala mu nju atunde ekibanja

By Saul Wokulira

Added 17th December 2017

OMUKAZI asuulidde nnyazaala we ebintu ebweru n’amugoba mu nnyumba asobole okutunda ekibanja.

Siba1 703x422

Nnamwandu Kizza. Mu katono, ye Gladys Namwanje

Gladys Namwanje yagobye nnyazaala we nnamwandu Maserina Kizza 86, mu nnyumba oluvannyuma lw’okwabya olumbe lwa bba Januario Lubega.

Ennyumba gy’abadde amugobamu eri Gaaza mu disistulikiti y’e Kayunga.

Wabula olukwe lw’okugoba Kizza mu nnyumba aboobuyinza balulinnyeemu egggere ne bassaawo ebiragiro okukugira Namwanje okutunda ennyumba.

Namwanje olwavudde mu lumbe n’anoonya abaguzi era nnyazaalawe n’amufulumya mu nnyumba n’amuwa aboomuliraano be yategeezezza nga bw’ayagala okutunda ekibanja asobole okuddayo ewaabwe e Kisoga atandise obulamu obupya.

Kizza takyasobola kutambula wadde okwerabirira nga mutabani we ye yali amulabirira.

RDC w’e Kayunga Rose Birungi ne Collin Kafeero avunaanyizibwa ku kukuuma eddembe ly’omuntu baatuuzizza olukiiko ne balagira Kizza okudda mu nnyumba.

Birungi yalabudde abaabadde baagala okufula ekibanja kino okukimanya nti bajja kuba nga baguze mpewo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abr1 220x290

Empaka za ASFAs bazongeddemu ebirungo...

Basereebu beesunga kuwangula ngule mu mpaka z'emisono eza Abryanz Style and Fashion Awards (ASFAs)

Siba 220x290

Leero mu mboozi z'omukenkufu, tukulaze...

EMMWAANYI kyabugagga era bajjajjaffe baazitunda ne bakolamu ebintu eby’enjawulo omwali okusomesa abaana, okugulanga...

Kusasiraserenandijjo32 220x290

Ekyabade mu kivvulu kya Kusaasira...

Ekyabade mu kivvulu kya Kusaasira ku Serena: Museveni ayanukudde Mayinja ku by'oluyimba lwa 'Ebintu bizzeemu'

Cf67bb0a32be4b27bedf0076e8e46208 220x290

Bazannye ffirimu ku ngeri abavubuka...

Ekitongole kya Reach a hand nga kiri wamu n'Omunigeria kafulu mu kuzannya ffirimu Emmanuel Ikubese basabuukuludde...

Teekamu 220x290

Eyanzigya mu ssomero yeegaanye...

NKIZUDDE kati nti eyannimbalimba n’annemesa emisomo yali ayagala kunkozesa nga tanjagala bya ddala.