TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ssangalyambogo akyadde ku old Trafford n'atendereza omutindo gwa club ya Manchester

Ssangalyambogo akyadde ku old Trafford n'atendereza omutindo gwa club ya Manchester

By Scovia Babirye

Added 19th December 2017

Ssangalyambogo akyadde ku old Trafford n'atendereza omutindo gwa club ya Manchester

Sa1 703x422

Ssangalyambogo ng'ali ku kisaawe kya Manchester Utd ekya Old Trafford

OMUMBEJJA Katrina -Sarah Ssangalyambogo ayaniriziddwa akulira etterekero ly’ebyafaayo ku kisaawe kya Old Trafford mu Manchester ,England.

Bino bibaddewo mu kulambula kw’ekikungu ku byafaayo by’ekisaawe okwategekeddwa akulira etterekero ly’ebyafaayo by’ekisaawe kino  Jason Leach wamu   n’oMukungu wa Kabaka mu Manchester Enock Mayanja Kiyaga ku Mmande wamu .

Leach yategeezezza nti Omumbejja kati ayingiziddwa mu famire ya Mancester United eyakazibwako erya ‘’Red Devils’’ eyatandika nga NewtonHealth LYR  FC mu 1878 oluvannyuma n'ekyusibwa mu Manchester United  mu 1902 era n'eyingira ekisaawe kyayo mu 1910.

Omumbejja ali mu England ekiseera kino yafunye omukisa okulaba omupiira Man U ezannya ne Man City wikendi ewedde wadde nga club ye (Man .U) yawanguddwa ggoolo 2-1.

Okulambula okwatutte essaawa eziwerako kwawadde Ssangalyambogo obumanyirivu olwokulambula ebintu ebiwerako mu Manchester ebitatera kulabwa bantu balala ,okusinziira mukungu wa Kabaka Enock Mayanja Kiyaga.

Ono yayongeddeko nti enkolagana empya Obwakabaka bwa Buganda gyebufunye ne Muanchester mukisa munene nnyo era kya kitiibwa nnyo ku bantu ba Buganda okutwaliza awamu.

Mu kwogera kwe, Omumbejja yategeezezza nti  ku byazze ng’awulira ku byafaayo bya club ya man-u naye ayizeemu bingi era akakasizza nti Man U ye club erina abazannyi abalina ebitone ate era nga bazannya n'obwagazi bw'omuzannyo gw'omupiira.

‘’Bazannya bulungi ate nga basanyusa abawagizi baabwe nga babasiima olw’obuwagizi bwebabawa ,omukwano wakati w’abazannyi mu kisaawe n’ebweru w’ekisaawe gwamaanyi nnyo era gusikiriza era gweyoleka nga bazannya’’Bweyategeezezza.

Okulambula nga kuwedde Omumbejja n’ebeyabadde n’abo baaweereddwa akabonero ka Man U  wamu ne tiketi okulaba omupiira wakati wa Man U ne Bournemouth gwebawangudde  goolo1-0.

Omumbejja oluvannyum yatwaliddwa ku mpewo ya Man U gyeyalagidde obwagazi bwe eri club eno okuviira ddala mu buto bwe

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Top2 220x290

Omusumba Tumusiime tayagala maka...

Omusumba Tumusiime tayagala maka galimu bizibu

Deb2 220x290

Obubonero obulaga ng’amafuta oba...

Obubonero obulaga ng’amafuta oba woyiro by’otadde mu mmotoka bikyamu

Kp2 220x290

Mubiri omunene akugobako endwadde...

Mubiri omunene akugobako endwadde

Kim2 220x290

abasawo bongedde okutangaaza ku...

abasawo bongedde okutangaaza ku kuzaala omwana asoosa ebigere

Kip3 220x290

ENSIRI : BW’OTOZITTA ZO ZE ZIKUTTA...

ENSIRI : BW’OTOZITTA ZO ZE ZIKUTTA