TOP
  • Home
  • Amawulire
  • 'Musimbe emiti tukole ebibira okukuuma omuziro gwaffe'

'Musimbe emiti tukole ebibira okukuuma omuziro gwaffe'

By Musasi wa Bukedde

Added 19th December 2017

KATIKKIRO w’ekika ky’Enkima Micheal Mugadya Sserubidde alagidde amasiga gonna agakola ekika ky’Enkima okusimba ekibira ky’ekika basobole okukuuma omuziro gwabwe oguweddewo olw’okutema ebibira.

Katikkirokwogera3 703x422

Katikkiro w'ekika ky'Enkima Micheal Sserubidde ng'ayogerako eri abazzukulu. EKIF: LAWRENCE KIZITO

Bya Lawrence Kizito

KATIKKIRO w’ekika ky’Enkima, Micheal Mugadya Sserubidde alagidde amasiga gonna mu kika okusimba ekibira ky’ekika basobole okukuuma omuziro gwabwe oguweddewo olw’okutema ebibira.

Ekiragiro yakiweeredde ku mukolo ogw’okumanyagana aboolunyiriri lwa Ssettuba gwe baategese e Wabikookooma - Semuto mu Bulemeezi.

Sserubidde yagambye nti okusimba ebibira kigenda kuyamba ku kukuuma obutonde bw’ensi n’okukuuma omuziro gwabwe ogw’Enkima gwe yagambye nti kati guddukidde Congo kubanga wano ebibira bitemeddwa ne biggwaawo.

Yannyonnyodde nti ekyeya ekireese enjala kiva ku kutema miti mu ngeri ey’ekyeyonoonere.

Yalagidde abakulira amasiga okukulemberamu abazzukulu okusimba ebibira.

Yayongeddeko nti baguddewo n’omukutu ku mutimbagano gwa yintanenti okuli kalonda yenna akwata ku kika kye Nkima n’asaba abazzukulu okukyalira omukutu gwabwe basobole okumanya enteekateeka zonna ezigenda mu maaso mu kika.

Ye Moses Bisaso Katikkiro w’essiga lya Lujumba yasabye abazzukulu okujjumbiranga enkiiko z’ekika basobole okwekuuma nga bali wamu kibasobozese okumanyagana.

Yeebazizza abawandiisi b’ebitabo abasobodde okuteeka ebyafaayo by’ekika mu kyapa ekinaasobozesa n’abazzukulu ab’omulembe ogujja okumanya ebyafaayo by’ekika kyabwe.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kept 220x290

Looya wa Kiwanuka ayanukudde mukyala...

EMIVUYO gyeyongedde mu ffamire y’omugagga Mohan Kiwanuka akulira balooya be bw’ategeezezza nti, mukama waabwe tabawanga...

Temu 220x290

Taata asse omwana n’amusuula mu...

ABAAGALANA bakwatiddwa nga bateeberezebwa okwekobaana ne batta omwana ow’emyaka ebiri, omulambo ne bagusuula mu...

Kat1 220x290

Amaanyi ga Buganda gali mu bavubuka...

Amaanyi ga Buganda gali mu bavubuka abakuziddwa mu mpisa

Pp 220x290

Sabiiti amalirizza lipooti Pulezidenti...

MAJ. Gen. Sabiiti Muzeyi akulembedde badayirekita ba poliisi ne basisinkana Pulezidenti okumwanjulira pulaani yaabwe...

Tek1 220x290

Akulira ebibiina by'obwegassi e...

Akulira ebibiina by'obwegassi e Kawempe avumiridde eky'okuggulawo ebibiina nga tebimaze kunoonyerezebwako