TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ssente za Saleh zikyayombya abayimbi ba kadongokamu

Ssente za Saleh zikyayombya abayimbi ba kadongokamu

By Hannington Nkalubo

Added 19th December 2017

ABAYIMBI abaawanguddwa mu mpaka za Kadongokamu eza Gen. Salim Saleh beevulunze mu ttaka mu maaso ge nga bawakanya olw’obutabawanguza mpaka nti zaabaddemu okubbira.

Salh 703x422

Ssebbaale ng’afukamidde mu maaso ga Saleh.

Saleh ataabadde ku mukolo gw’okulangirira abawanguzi e Kololo ku Lwomukaaga, yabayise ku Mmande awulire okwemulugunya n’okuwa abawanguzi ssente zaabwe.

Baasoose kuba bakKakkamu ne bamuwuliriza era Saleh yagambye nti akimanyi nti waabaddewo obutakwatagana wakati w’abakulembeze ow’ekibiina ekibafuga ekya Kadongokamu Music Theater Association ekya Ronald Kawuki (Kikoofiira) ne ssentebe Paul Katongole.

Omuyimbi Fred Ssebbaale eyabadde yalemeddeko ng’awanise omukono, yagenze n’ekiwandiiko omwabadde ensonga ze. Mu busungu yasoose kufukamira mu maaso ga Salim Saleh n’amwebaza.

Yatandikiddewo okuyomba nti byonna ebikoleddwa tebibaddemu mazima. Mathias Walukagga yayambalidde abategesi nti tebalina kye baakoze okuggyako okuyisaawo abayimbi baabwe kubanga akakiiko kabaddeko bantu be batakolagana nabo abaayisizzaawo abantu be baagala.

Geoffrey Ssebidde yaloopedde Saleh nti babadde bawulira bukadde bwa ssente obubadde bukozesebwa okutegeka empaka ezo omuli n’obukadde 12 ze baabasindikira wabula yafunako 150,000/- zokka.

Obwedda boogera Saleh bw’anyenya omutwe n’okwewuunya era n’abategeeza nti singa tebakola ku butakkaanya bwabwe ekintu bagenda kukyettira.

Wabula eyabadde ku kakiiko Mariam Namubiru yeewuunyizza Walukagga ne Fred Ssebbaale bye baayogedde n’agamba nti tebalina mazima kuba empaka zaabadde za mazima lwakuba baawanguddwa ne boogeza obusungu.

Wabula Saleh yabagambye nti ebintu bye yabawa ng’emiramwa kwe bateekeddwa okuyiiyiza ennyimba byonna baabirese bbali omuli okulaga obutale bw’ebirime, obwetaavu bw’ebirime mu baguzi, omutindo gw’ebirime, enkola y’emirimu, entambuza y’ebirime okuva ku faamu okutuuka mu katale, okunoonyereza ku mutindo gw’ebirime n’okukola obulimi n’ekigendererwa ky’okufuna ssente.

Oluvannyuma Saleh yakwasizza abawanguzi ssente zaabwe omuli; Fred Ssebatta eyabamezze, obukadde 50, Vincent Ssegawa 25 ne Silvesto Busuulwa 15 ne Mathias Walukagga 10.

Abayimbi 21 bonna Operation Wealthy Creation yabawadde 500,000/- ate Salim Saleh mu kkampuni ye eya Namunkekera n’abakwasa ebbaasa egambibwa nti yabaddemu doola za America 500 [ 1,800,000/-] nga yagikwasizza DJ Kikofiira eyazigabye ku lwa banne.

Abayimbi baasiimye Gen. Charles Angina ne Kiconco Tabaro omwogezi wa Operation Wealthy Creation olw’okubayamba.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sit114 220x290

Gavumenti etandikidde Bwaise okugaba...

Gavumenti etandikidde Bwaise okugaba emmere

Fud1 220x290

Omugagga Ham awaddeyo obukadde...

Omugagga Ham awaddeyo obukadde 100 okudduukirira abali obubi olw'embeera ya Corona Virus

Denisonyango1703422 220x290

Coronavirus atta - Onyango

KAPITEENI wa Cranes, Denis Onyango, akubirizza Bannayuganda okwongera okwegendereza ssennyiga omukambwe 'COVID-19',...

Nakanwagigwebaalumyekoomumwa1 220x290

Emmere etabudde omukozi wa KCCA...

OMUKOZI wa KCCA alumyeko muliraanwa we omumwa ng’amulanga okutuma omwana okubba emmere ye, naye abatuuze bamukkakkanyeko...

Hell 220x290

Gav't etaddewo kampeyini ya ‘TONSEMBERERA’...

Gavumenti etaddewo kampeyini etuumiddwa “TONSEMBERERA” mw’eneeyita okutangira okusaasaana kwa ssennyiga wa coronavirus....