TOP

Katikkiro alambudde amasiro e Kasubi

By Dickson Kulumba

Added 20th December 2017

KATIKKIRO wa Buganda, Charles Peter Mayiga alambudde omulimu ogukolebwa mu masiro e Kasubi n’ategeeza nti gwetaaga ssente nnyingi, obukugu n’obugumikiriza.

Kulambula1 703x422

Charles Peter Mayiga

Mayiga yabadde ne baminisita ba Kabaka n’Omulangira Chrispin Jjunju ne balambula omulimu gw’okuzzaawo Muzibu Azaalampanga we gutuuse n’ayongera okuwera eri Bassekabaka nti gugenda kuggwa mu mbeera yonna.

“Teri mulimu muzibu mu Buganda ng’okuzimba amasiro. Omulimu guno gwetaaga obukugu kuba abakola eby’ennono nga Bawabulakayole tebawera wadde 10 mu Buganda. Gwetaaga obugumiikiriza bw’otunuulira obudde bwegututte ate n’ensimbi enkumu kuba ennaku zino buli ssente omuwanika zafunawo, azisindika Kasubi,” Mayiga bwe yagambye.

Maneja wa pulojekiti y’okuzzaawo amasiro, Jonathan Nsubuga yagambye nti omulimu gwetaaga obuwumbi bubiri okumalirizibwa nga ssente bwe zinaabula gujja kutwala ebbanga ddene.

‘Twasaba Gavumenti etwongere obuwumbi bubiri n’ekitundu okukola omulimu guno kyokka tetunnaba kuzifuna. Ssinga tufuna ssente zino omulimu gusobola okumalirizibwa mu July wa 2018.

Guno mulundi gwakubiri nga Katikkiro alambula omulimu ogukolebwa bukya bayimiriza abantu okulambula amasiro mu March 2016.

Ssentebe w’olukiiko oluli ku mulimu gw’okuzzaawo amasiro, Hajji Kaddu Kiberu yategeezezza nti waliwo omulimu munene ogukoleddwa okuva ku lunaku lwa May 17, 2017.

Hajji Kiberu yategeezezza nti okuwunda munda gusigaddeko omulimu mutono nga mu kiseera kino abazimbi batandise okuteeka emiti gy’emisambya wabweru w’akasolya era okwongeramu amaanyi mu mulimu guno, bafunye ebinywa by’emmuli 3500 okumaliriza munda mu kasolya.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sev3 220x290

Museveni agguddewo olusirika lwa...

Museveni agguddewo olusirika lwa NRM

Kab2 220x290

Ababadde bazze okupima ettaka emmotoka...

Ababadde bazze okupima ettaka emmotoka yaabwe bagikumyeko omuliro

Lab2 220x290

Kirya yeesozze "quarter" za Uganda...

Kirya yeesozze "quarter" za Uganda Cup n'okontola

Pop1 220x290

Okusunsula abayizi abagenda mu...

Okusunsula abayizi abagenda mu S5 kuwedde

Lop2 220x290

Ababbi balumbye ebyalo abatuuze...

Ababbi balumbye ebyalo abatuuze ne battako omu