TOP

Sipiika Kadaga atenderezza ababaka

By Kizito Musoke

Added 23rd December 2017

SIPIIKA wa Palamenti Rebecca Kadaga atenderezza ababaka olw’okuba abagumiikiriza nga bayisa ebbago ly’okuggya ekkomo ku myaka gya Pulezidenti ku Lwokusatu.

Watcha 703x422

Kadaga (ku kkono) ng'afa enseko

Yasinzidde ku kabaga ka Palamenti ak’okumalako omwaka ku Lwokuna ekiro n’asiima ababaka olw’okubeera abagumiikiriza ne batuula okutuuka ku ssaawa mukaaga mu ttumbi nga tebaseguse okutuusa lwe baamalirizza okuyisa ennoongoosereza mu Konsitityusoni.

“Nabadde sirowooza nti tuyinza okutuuka ekiro bwe kityo ng’ababaka bakyaliwo. Kyokka wadde buvunaanyizibwa bwammwe okubeera mu Palamenti, kyokka mwalaze obugumiikiriza n’obuvunaanyizibwa obw'enjawulo” Kadaga bwe yasiimye ababaka.

Kadaga yasiimye Palamenti olw’okuyisa amateeka agawera mu mwaka gwa 2017, kyokka n’alaga okwemuluganya eri Pulezidenti olw’okulwawo okussa omukono ku mateeka agabeera gayisiddwa Palamenti okusobola okutandika okukola.

Palamenti yasembye kuyisa nnoongoosereza mu Konsitityusoni ezaggyewo ekkomo ku myaka gya pulezidenti n’okukkiriza abawezezza emyaka 18 okuvuganya ku bwa pulezidenti.

Ekisanja kya bakulembeze bonna kyayongezeddwayo okuva ku myaka etaano okutuuka ku musanvu.

Pulezidenti y’asigalidde okussa omukono ku tteeka lino. Sipiika yajjukizza ababaka ba Palamenti nti balina okweyisa mu ngeri egoberera amateeka agabafuga.

Omubaka anaamenya amateeka yagambye nti kijja kuba tekyewalika okumubonereza.

Robinah Nabbanja (mukazi/ Kakumiro) yasiimye Kadaga olw’okukubiriza obulungi Palamenti nga bakola ennoongoosereza za Ssemateeka.

Yagambye nti kino kyabayambye Bannayuganda okugenda mu nnaku enkulu nga bamaze okukola ennongoosereza abantu ze baabalagira okukola.

ABOOLUDDA OLUVUGANYA GAVT. BEESAMBYE AKABAGA

Ababaka b’oludda oluvuganya Gavumenti beesambye akabaga akeetabyeko ababaka abataasusse 100.

Oluvannyuma Kadaga yaguddewo amazina, ababaka ne bakyusa ebiwato nga beekulisa omwaka gwa 2017.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Drssempangieyasingaanidwamumakagenanyonyolawebuse 220x290

Abaana Abakaramoja basomesebwe...

Ssempangi awabudde gavumenti ku baana b’e Karamoja abasibira ku nguudo n’ategeeza nga bwe batundibwa abazadde okujja...

Chozenbeckyclearwebuse 220x290

Abayimbi beesunga kusanyusa badigize...

Abayimbi ab'amannya bali mu kuwawula maloboozi olw'okwesunga okuyimba mu Kyepukulu ekiwagiddwa Vision Group ne...

Lukiikombalirira7 220x290

Buganda eyisizza embalirira yaayo...

OBWAKABAKA bwa Buganda buyisizza embalirira y’Omwaka 2019/2020 ng’eno ya nsimbi 121,079,490,880/- nga kweyongera...

Samba 220x290

Omusika atunze ebiggya ku 1500/=!...

PULOFEESA Kiwanuka Ssemakula amaziga gaamuyunguse bwe yatuuse ku butaka gy’asibuka ng’amalaalo ga kitaawe gaatundibwa...

Kub2 220x290

Gavt. esiimye ebitongole ebisikiriza...

Gavt. esiimye ebitongole ebisikiriza abavubuka okuyingira obulimi n’obulunzi