TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Besigye alidde mu ttama: "Abaakutte ku Ssemateeka mubaggyeemu obwesige"

Besigye alidde mu ttama: "Abaakutte ku Ssemateeka mubaggyeemu obwesige"

By Scovia Babirye

Added 23rd December 2017

COL. Dr. Kiiza Besigye ategeezezza nga bw’agenda okukola kakuyege mu konsitityuwensi z’ababaka abawagidde okukyusa akawaayiro 102b ng’akunga abantu okubaggyamu obwesige.

Pada 703x422

Besigye ng'ayogerera mu lukung'aana

Bino yabyogeredde mu lukuh− haana lwa bannamawulire ku ofiisi za FDC ku Katonga Road bwe yabadde asisinkanye abakulembeze b’ebibiina ebivuganya Gavumenti okubadde JEEMA,CP FDC n’ebirala.

Besigye yategeezezza nti omwaka 2017 gubadde mubi nnyo ku Bannayuganda kuba gubaddemu ebizibu bingi omuli ekibbattaka, ekittabakazi, okwekalakaasa kw’abasawo ne bannamateeka, obuswavu Uganda bwe yafuna mu Amerika olw’obubbi kw’ogatta n’ekizibu ekisinze byonna eky’okukyusa Ssemateeka.

Yagambye nti obulumbaganyi bwonna obukoleddwa ku Ssemateeka buli eyeenyigiddemu bijja kumulakira ng’ekiseera kituuse era buli mubaka eyeenyigiddemu tasuubira kuddamu kufuna bwesige okuva mu balonzi be.

“Ssemateeka abadde atambulira ku magulu abiri okuli (term limit ne age limit) ebyo ke byakwatiddwaako kati Ssemateeka kiwowongole naye nga Museveni, Kadaga n’ababaka be basaale kyokka ne beerabira ebiragiro by’abalonzi baabwe,’’ Besigye bwe yagambye.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Capture 220x290

Emitimbagano gya Vision Group gyakuvaako...

Emitimbagano gya Vision Group okuli ogwa bukedde.co.ug ne newvision.co.ug gyakuggalawo ku wiikendi eno okutandika...

Br3 220x290

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya...

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya abaali abakozi be zisajjuse

Kit1 220x290

Engeri akasaawe k'e Mulago gye...

Engeri akasaawe k'e Mulago gye kaalera Jimmy Kirunda

Jit1 220x290

Afiiridde mu kibanda kya firimu...

Afiiridde mu kibanda kya firimu e Mukono

Bad1 220x290

King Michael akaayidde Balaam

King Michael akaayidde Balaam