TOP

Ababaka abataalabise mu kulonda baabadde ludda wa!

By Musasi wa Bukedde

Added 23rd December 2017

N’OKUTUUSA kati wakyaliwo okwebuuza ku babaka abaatalabiseeko ku Lwokusatu mu Palamenti bwe baabadde bakuba akalulu akasalawo oba nga baggya ekkomo ku myaka gya pulezidenti.

Watcha 703x422

Abakulembeze booludda oluvuganya Gavumenti n’abatuuze b’e Mawokota South beerayiridde nga bwe batandise okunoonya emikono okuggya obwesige mu mubaka wa Mawokota South, John Bosco Lubyayi olw’okubawaayiriza n’awagira okukyusa Ssemateeka ng’ate baakigaana. Wano baabadde mu lukuhhaana lwa bannamawulire lwe baatuuzizza ku Klezia ya St. Kizito Sub Parish e Kayabwe ku Lwokutaano. Owookubiri okuva ku ddyo ye ssentebe wa DP owa Mawokota South, Simon Peter Kawuki n’akulira abakyala ba DP Teddy Namboze (amuddiridde), Kambugu Nyanzi n’abalala.

Ku muwendo gw’ababaka 435 abaabadde basuubirwa okulonda, ababaka 424 be baalabiseeko.

Abantu ba bulijjo n’ababaka bakyebuuza ekyatuuse ku bannaabwe oba nga ddala baafunye buzibu oba baabuzeewo mu bugenderevu.

Abamu ku babaka abataalabiseeko kuliko; Peter Mugema “Panadol” (Iganga Municipality), Idah Nantaba (mukazi/ Kayunga), Deogratius Kiyingi (Bukomansimbi South), Nabilah Naggayi (mukazi/ Kampala), Wamanga Wamai (Mbale Municipality), Moriku Kaducu Joyce (mukazi/ Moyo).

Peter Mugema ow’e Iganga yagambye nti yali waakulonda, kyokka baafiirwa owooluganda eyali asoma obwayinginiya e Makerere.

Yagasseeko nti; “nazibuwalirwa okuleka omulambo awaka ng'ende mu by’obufuzi era omufu twamuziise Lwakuna”.

Kyokka ebigambo bya Mugema abamu babibuusabuusa nga bagamba nti aludde nga talabika mu Palamenti naddala okuva ekiteeso kino lwe kyayanjulwa.

Okuva lwe baalonda omumyuka wa Sipiika we yaleetera erinnya lya Muhammed Nsereko (Kampala Central) eyawangulwa Oulanyah abadde taddangamu kuwulikika nnyo.

Mugema yafuna ekyekango oluvannyuma lw’omulamuzi wa kkooti enkulu Margaret Mutonyi okusazaamu obuwanguzi bwe n’alangirira Nasser Abed (FDC) ku buwanguzi.

Okuva olwo abadde taddangamu kuwulikika era ne mu Palamenti ajja bbalirirwe. Wano abamu we bava okulowooza nti wadde yafiiriddwa naye yandiba n’ekibalo ekirala.

Joyce Moriku Kaducu (mukazi/ Moyo) yasangiddwa ali mu ddwaliro lya Agha Khan e Nairobi gy'ali mu kujjanjabwa oluvannyuma lw’okuddusibwa okuva mu ddwaaliro lya IHK nga takyasobola kussa.

Obutabeerawo kyabadde kisuubirwa kuba baamutwala assiza ku byuma we baamutwalira e Kenya era yabadde tasuubirwa kubeera ng’awonye mu kiseera ekitono.

Deogratius Kiyingi (Bukomansimbi South); kigambibwa nti mulwadde era gye buvuddeko Muhammad Nsereko (Kampala Central) yategeeza nti yali afunye amawulire nga mulwadde ng’ali mu ddwaaliro lya Aga Khan e Nairobi.

Kyokka waliwo omubaka wa DP ataayagadde kumwatuukiriza mannya eyagambye nti amawulire g’afuna galaga nti Kiyingi yakomawo mu ggwanga.

Wadde twagezezzaako okumunoonya n’okwogera ne mukyala we Florence Nakiwala (minisita w’abavubuka n’abaana) kyokka tetwafunye kituufu.

Aidah Erios Nantaba (mukazi/ Kayunga) ono minisita mulamba avunaanyizibwa ku nsonga z’ebya tekinologiya ne kompyuta era obutabeerawo yeewunyisizza abantu.

Bwe yali yeebuuza ku bantu ku nnongoosereza z’okuggya ekkomo ku myaka, Nantaba yalabikira mu lukiiko lwe yakuba mu kabuga k’e Busaana Town Council ng’ali n’omubaka wa Ntenjerou North nga yeesibye akagoye akamyufu ku mukono obwali bweyambisibwa abantu aba ‘Togikwatako.’

Kyokka oluvannyuma yategeeza Bukedde nti kino okukikola yali teyeeyagalidde, wabula abalonzi be baamukolako effujjo ne bamusiba akagoye n’akalekako nga talina kyakukola.

Kyokka teyakakasa Bukedde oba nga yali awagira Konsitityusoni kuba yategeeza nga bwe yali akyakola okwebuuza ku bantu.

Nabilah Naggayi (mukazi/ Kampala) teyalabiseeko wadde ng’okusooka olutalo lw’okulemesa okwanja ekiteeso kya Raphael Magyezi (Igara West) eky’okuggya ekkomo ku myaka yalulimu nnyo.

Ababaka abamu baategeezezza nti okuva olwo, Naggayi teyaddamu kubeera ku mwanjo.

Waliwo abagamba nti yafunamu obukosefu n’asalawo okwewala entalo. Bwe yasomeddwa erinnya lye nga taliiwo bangi ne beesika nga beebuuza ekyabadde kimutuseeko.

Amasimu ge agamanyiddwa tegaliiko, era ng’ababaka beebuuza awatuufu w’ali.

Waliwo omubaka eyagambye nti; “kyankubye wala obutalaba Nabilah, kuba twali ffenna ng’olutalo lutandika era n’alwanyisa abaserikale abaali batuzinze akaseera kano we yabadde asinga okwetaagisibwa”.

Jack Wamanga Wamai (Mbale Municipality) amanyiddwa ng’omubaka ateerya ntama era nga kijjukirwa nti olukungaana lwe yakuba mu kibuga e Mbale nga yeebuuza ku balonzi lwawaliriza poliisi okulugumbulula n’omukka ogubalagala.

Bwe baasomye erinnya lye yabadde taliiwo. Kyokka waliwo abaategeezezza nti yasangiddwa mu ggwanga lya Haiti gye yagendera mu kibinja ne Jacob Oulanyah amyuka Sipiika wa Palamenti.

Paul Mwiru, amyuka omwogezi wa FDC yagambye nti yabadde tannamanya nsonga yagaanyi Nabilah Naggayi ne Wamanga Wamai okubeera mu palamenti.

Aboogerwako twafubye okubanoonya, kyokka tetwabafunye.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Amomentwithteachergracenampiimaeditortotomagazinewebuse 220x290

Ensonga 5 lwaki omwanawo olina...

Abakugu bakulaga ensonga lwaki osaanye okusasulira omwana wo okugenda okulambula

Passionfruitpannacotta800800webuse 220x290

Ebivaako omwana okuziyira

Genderera omwana wo okutangira okuziyira okusobola okutangirwa

4webuse 220x290

Omuwendo gw’abantu abakozesa kondomu...

Bannayuganda bakubiriziddwa okwettanira okukozesa kondomu bwe tunaaba baakumalawo siriimu ng'omwaka 2030 tegunnatuuka...

Unity 220x290

Akwatibwa ng'awa abaana abataayaayiza...

EBYOKUSAAGA bikomye: Minisita w’ensonga z’abaana Florence Nakiwala Kiyingi ategezezza nti omuntu yenna anaakwatibwa...

Unique 220x290

Etteeka ku bamansa kasasiro lijja...

MINISITA avunaanyizibwa ku guno na guli Mary Karooro ategeezezza nti gavumenti egenda kuleeta erobonera abamala...