TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ab'oludda oluvuganya gavumenti baleese kampeyini enkambwe

Ab'oludda oluvuganya gavumenti baleese kampeyini enkambwe

By Muwanga Kakooza

Added 23rd December 2017

ABOLUDDA oluvuganya bagambye nti batongozza kampeyini endala emanyiddwa nga ‘’k’ogikutteko’’ oluvannyuma lwa palamenti okuyisa akawaayiro akaggyawo ekkomo ku myaka gya Puezidenti ekigenda okusobozesa Pulezidenti Museveni okuddamu okwesimbawo mu 2021 bw’aba ayagadde.

Togikwatakoweb 703x422

Ab’oludda oluvuganya baagambye nti olubimbi lwabwe olw’okulwanyisa akawaayiro akawa Pulezidenti Museveni ekyanya okuddamu okwesimbawo mu 2021 baalulimye kati kiri eri Bannayuganda okusalawo ekiddako.             

Mu lukung’ana lwa bannamawulire mu Kampala, ab’oludda oluvuganya abaakulembeddwa alukulira mu Palamenti, Winnie Kizza baagambye nti batandise kaweefube omupya ow’okulwanyisa ensonga zino gwe batuumye ‘’k’ogikutteko’’ era baagala Bannayuganda babalage ekiddako.             

Bagamba nti kampeyini eno y’egenda okubaamu kiki ekiddako oluvannyuma lw’akawaayiro akaggya ekkomo ku myaka gya Pulezidenti okuyisibwa era ne basaba Bannayuganda okusalawo ekiddako. 

Baagambye nti bagenda kusigala nga bawakanya embeera eno era ‘’ompuiira’’ bagutadde mu ngalo za Bannayuganda okusalawo ekiddako.

Era ne bagamba ababaka abaali ku ludda oluvuganya gavumenti nga Beatrice Anywar okusalawo okuwagira ebya Pulezidenti Museveni okugenda maaso bajja kukyejjusa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Whatsappimage20181214at173512 220x290

SC Villa etimpudde Express FC n'ennyogoza...

SC Villa etimpudde Express FC n'ennyogoza abawagizi baayo mu kisaawe e Namboole omupiira gye guyindidde!

Mosesmakoyaniowakibogakuddyongattunkaneambrosenaturindaowantinda 220x290

Kiboga ewaga mu Big League

TTIIMU ya Kiboga FC eyaakesogga Big League eremedde ku Proline FC okugisuuza entikko y’ekibinja kya Rwenzori ekitaddewo...

Hib1 220x290

Omulamuzi atabukidde abakakiiko...

Omulamuzi atabukidde abakakiiko k'ebyettaka e Lwengo

Reb2 220x290

Maneja w’ebbaala ya Casablanca...

Maneja w’ebbaala ya Casablanca asindikiddwa ku limanda

Deb1 220x290

Abakola ebimansulo e Kyetora balabuddwa...

Abakola ebimansulo e Kyetora balabuddwa