TOP

Obubaka bwa Kabaka obwa Ssekukkulu

By Dickson Kulumba

Added 24th December 2017

KABAKA Ronald Muwenda Mutebi II agambye nti Obwakabaka bukyalina okusomoozebwa kw’Olubiri lw’e Mmengo saako okumalirizibwa kw’Amasiro g’e Kasubi bw'atyo n'ategeeza nti bigenda kussibwako essira omwaka ogujja.

Kabakabamasaza5 703x422

Kabaka ng'ayogera eri Abaami b'amasaza ga Buganda nabakubiriza okubeerako Pulojekiti ez'enjawulo mu masaza gaabwe ago ate n'okuwa Abavubuka obuvunanyizibwa mu masaza ago.

Bino biri mu bubaka bwe obw’amazaalibwa ga Yesu nga obwafulumiziddwa ku Lwomukaaga December 23, 2017 nayongera okukubiriza abantu be okusomesa abaana, okubeera abayonjo, ab’empisa era abantu balamu nga bewala emizze ng’obuli bw’enguzi n’obulyake, okussinganamu ekitiibwa n’okukomya okutyoboola eddembe ly’Obuntu.
 
“Tukyalina okusoomozebwa ku mbeera y’Olubiri lw’e Mmengo. Ensonga eno ejja kukwatibwaako n’amaanyi wamu n’obwegendereza omwaka ogujja. Amasiro g’e Kasubi nago tusuubidde nti ganaggwa mu kiseera ekitali kyewala,” Kabaka bweyagambye mu bubaka bwe.
 
Ekiwandiiko kino ekyafulumiziddwa Munnamawulire we, Sam Dick Kasolo, Kabaka yayongedde nalagira buli kitongole ky’Obwakabaka okutuukiriza  ebikisuubirwamu nga buli muwereeza akola n’amaanyi ge gonna okulaba ng’eggwanika liyingiza ensimbi ezinayamba okutuukiriza enkulakulana gyebagenderera saako n’okusikkiriza Bamusigansimbi okubegattako okutumbula ebyenfuna.
 
“Nga  mwenna bwemumanyi, omwaka guno tusimbye essira ku kukalattira abasajja n’abalenzi okuba abasaale mu kulwanyisa akawuka n’obulwadde bwa siriimu. Engabo tujja kwongera okugirumisa amannyo okutuusa nga Mukenenya akenderedde ddala, sinakindi, ng’alinyiddwa ku nfeete. Twandyagadde muwulirizze ebyo byetubagamba,” Kabaka bwe yayongedde okukuutira abantu be ku nsonga y’obulamu eno.
 
Yagasseeko nti:
 
“  Olukiiko  lwa Buganda olukulu nga lukolaganira wamu n’Akakiiko akafuzi, luyisizza ebiteeso bingi n’okubangawo enkola ennungamu enegobererwa Obwakabaka mu mirimu emitongole. Tuwagira era twagala enkola  eyo egobererwe.”
 
Kabaka yasasidde abantu be bonna abafunye ebizibu ebitali byangeri zino naddala abo abafiriddwa era naalagira abantu be abalina obusoboozi okufubanga okuwandiika  ebitabo ebikwata ku byebayiseemu, bisobole okweyambisibwa ab’emirembe egiriddirira.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

3f74e568a3684a1eac5d6d555644365318 220x290

Magufuli alagidde abaddukanya ekidyeri...

OMUWENDO gw’abantu abaafiiridde mu kidyeri mu nnyanja Nnalubaale gwongedde okulinnya! Pulezidenti wa Tanzania John...

Sevo 220x290

Ab'e Rubirizi basabye Museveni...

ABAKULEMBEZE b’omu disitulikiti y’e Rubiriizi basabye Pulezidenti Museveni okukoma ku bajaasi ba UPDF okukendeeza...

Budgetkasaijaweb 220x290

Bawera kusimbira kkuuli enteekateeka...

ABABAKA ku kakiiko ka palamenti akavunaanyizibwa ku byobulimi bawera kusimbira kkuuli enteekateeka z’okuyisa embalirira...

Kola 220x290

Mukolerere obukadde bwammwe - Minisita...

MINISITA omubeezi ow’ebyenguudo Gen. Edward Katumba Wamala akubirizza abantu okukolerera obukadde bwabwe nga bakyalina...

42312484102150760182472974931861717081653248n 220x290

Bobi Wine eby’okutulugunya abantu...

BOBI Wine ne banne eby’okubatulugunya babitutte mu kibiina ky’amawanga amagatte (UN ), era boongedde okukungaanya...