TOP

Aba NRM abaagaanye 'Okugikwatako' bubakeeredde

By Musasi wa Bukedde

Added 24th December 2017

Ekibiina kya NRM kiteekateeka okutuula okusalawo eky’okukolera ababaka baabwe abawakanya ennoongoosereza mu Konsitityusoni ezaabadde zigendera okuggya ekkomo ku myaka gy’omukulembeze w'eggwanga.

Nrmmpsagainstantiagelimitrepliedmuseveniu2019sletter595381 703x422

Solomon Silwany (Bukooli Central), amyuka ssentebe wa kabondo, yagambye nti kibeera kikyamu ababaka okwewaggula okuva ku kintu ekiba kisaliddwawo ekibiina mwe bava.

“Tugenda kutuula tulabe eky’okukolera ababaka bano abeewagudde ne bakola ebyabwe. Si kituufu omubaka yenna okulonda ekintu ekimuwakanya ensonga yonna ebeera emaze okusalibwawo ekibiina mwe bava”, Silwany bwe yagambye.

Ababaka ba NRM abawera 28 ku Lwokusatu baalonze nga bawakanya enongoosereza mu Konsitityusoni ezaabadde ez’okuggya ekkomo ku myaka 75 egy’omukulembeze we ggwanga.

Kwabaddeko; Johnson Muyanja Ssenyonga (Mukono South), Sarah Nakawunde (mukazi/Mpigi), Anthony Ssemuli (Mubende Municipality), Connie Galiwango (mukazi/ Mbale), Henry Maurice Kibalya ( Bugabula South), Theodore Ssekikubo (Lwemiyaga), Helen Kahunde (mukazi/ Kiryandongo).

Monicah Amoding (mukazi/ Kumi ), Robert Ndugwa Migadde (Buvuma), Mbwa Tekamwa Gaffa ( Kasambya), Patrick O. Nsamba (Kassanda North), Susan Amero (mukazi/Amuria), Alex Ruhunda (Fort Portal Municipality), Sylvia Rwabwogo (mukazi/Kabarole), Denis Sabiiti (Rubanda West).

Richard Gafabusa (Bwamba), Micheal Timuzigu (Kajara), Evelyn Chemutai (mukazi/Bukwo), James achdri (Maracha East), James Ruugi Kaberuka Niringiyimana (Kinkizi West), John Baptist Nambeshe (Manjiya), Sam Lyomoki (Bakozi), Justine Khainza (mukazi/Bududa), Jacqueline Rama Aol (mukazi/Nebbi), Norah Bigirwa Nyendwoha (Mukazi /Buliisa), Daniel Muheire (Buhaguzi), Felix Okot Ogong (Dokolo South), Barnabas Tinkasiimire (Buyaga West).

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ssaavabazigu1 220x290

Abagambibwa okubba Abachina e Nkoowe...

ABAVUBUKA abagambibwa okubbisa eryanyi nga bakozesa emmundu basimbiddwa mu maaso g’omulamuzi wa kkooti Enkulu etuula...

Sooto2 220x290

Embeera ya Ppaaka Enkadde: Okw'enkuba...

Enkuba bw'etonnya Ppaaka enkadde fuula nga kiraalo kya nte!

Kubbiri6 220x290

Olutalo lwa Ssennyonga ne Kakande...

OMUSUMBA Jackson Ssennyonga aguze ekizimbe okumpi n'ekkanisa ya Nabbi Samuel Kakande ku bbiri e Mulago, embiranye...

Kabz 220x290

Kabushenga asiimye KCCA FC

"Kino kigenda kumpaliriza okulaba emipiira gya KCCA nga ntandiika n'ogwa CAF Confederations Cup.

Kiwa1 220x290

Mukyala w’omugagga Kiwanuka omukulu...

EBYA famire ya Mohan Kiwanuka byongedde okulanda mukyala mukulu bwavuddeyo n’ata akaka ku muggya we gwalumiriza...